Add parallel Print Page Options

Yagalanga Mukama Katonda wo

“Kale nno, bino bye biragiro, n’amateeka, Mukama Katonda wammwe bye yandagira okubayigiriza, mubikwatenga era mubigonderenga, nga mumaze okusomoka omugga Yoludaani nga muyingidde mu nsi ejja okubeera obutaka bwammwe obw’enkalakkalira. (A)Bw’otyo ggwe n’abaana bo, n’abaana b’abaana bo oluvannyuma lwabwe, olyoke otyenga Mukama Katonda wo ennaku zonna ez’obulamu bwo, ng’ogondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkuwa leero; olyoke owangaalenga. (B)Noolwekyo, wulira, Ayi Isirayiri, ogonderenga ebiragiro ebyo n’obwegendereza, ebintu byonna bikugenderenga bulungi, mulyoke muzaale mwalenga nnyo, mu nsi ekulukuta n’amata n’omubisi gw’enjuki, nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza.

Etteeka ly’Okwagala

(C)“Wulira, Ayi Isirayiri: Mukama Katonda waffe ali omu. (D)Oyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’omwoyo gwo gwonna, n’amaanyi go gonna. (E)Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo. (F)Ogayigirizanga abaana bo n’obwegendereza. Ogoogerengako bw’onoobanga otudde mu maka go, ne bw’onoobanga otambula mu kkubo, bw’onoobanga ogalamiddeko, ne bw’onoobanga ogolokose. (G)Onoogasibanga ku mikono gyo, nga bwe bubonero obw’okukujjukizanga, era ogatekanga ne ku kyenyi kyo. (H)Onoogawandiikanga ku myango gy’ennyumba yo, era ne ku nzigi zo.

10 (I)Mukama Katonda wammwe bw’alimala okukutuusa mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo okugibawa, nga mulimu ebibuga ebinene ebikulaakulana, by’otaazimba, 11 (J)n’amayumba agajjudde buli kintu kyonna ekirungi, ky’otaateekamu, n’enzizi z’otaasima, n’ennimiro z’emizabbibu n’emizeeyituuni z’otaasimba; kale, bw’onoomalanga okulya n’okkuta, 12 weekuumenga olemenga okwerabira Mukama eyakuggya mu nsi ey’e Misiri eyali ey’obuddu.

13 (K)“Otyanga Mukama Katonda wo. Ye gw’obanga oweereza yekka, era mu linnya lye lyokka mw’obanga olayiriranga. 14 Temuweerezanga bakatonda balala, bakatonda b’amawanga aganaabanga gabeetoolodde; 15 (L)kubanga Mukama Katonda wo, ali wakati mu mmwe, Katonda wa buggya; obusungu bwe bugenda kukubuubuukirangako, akuzikirize, akumalewo ku nsi. 16 (M)Temugezesanga Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwakola nga muli e Masa. 17 (N)Munyiikirenga okukuumanga n’okugonderanga amateeka n’ebiragiro Mukama Katonda wammwe by’akuwadde. 18 (O)Okolanga ebyo Mukama by’akkiriza ebituufu era ebirungi; olwo olyoke obe bulungi ng’oyingidde mu nsi eyo ennungi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo okugibawa, 19 ng’agobyemu abalabe bo bonna, nga Mukama Katonda bwe yasuubiza.

Okunnyonnyolanga Abaana Amateeka

20 (P)“Mu biseera ebirijja, omwana wo bw’akubuuzanga nti, Ebyo byonna ebinnyonnyola buli kalonda, n’amateeka, n’ebiragiro Mukama Katonda waffe bye yabalagira, bitegeeza ki? 21 Omuddangamu nti, ‘Twali baddu ba Falaawo mu nsi ey’e Misiri, naye Mukama Katonda n’atuggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi. 22 Mukama Katonda n’alaga obubonero obw’ekitalo, n’akola ebyamagero ebinene era ebitatendeka ku Misiri ne ku Falaawo n’ab’omu maka ge bonna, nga naffe tulaba. 23 N’atuggyayo n’atuyingiza muno alyoke atuwe ensi eno gye yalayirira bajjajjaffe okugibawa. 24 (Q)Mukama n’atulagira okukwatanga amateeka gano gonna n’okugagonderanga, n’okutyanga Mukama Katonda waffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga nga tuli mu mbeera ennungi, era nga tuli balamu, nga bwe tuli leero. 25 (R)Era singa tuneegenderezanga ne tukwata amateeka gano gonna ne tugagonderanga, mu maaso ga Mukama Katonda waffe, nga bwe yatulagira, tunaabanga tutuukirizza ebyo by’ayagala.’ ”

Love the Lord Your God

These are the commands, decrees and laws the Lord your God directed me to teach you to observe in the land that you are crossing the Jordan to possess, so that you, your children and their children after them may fear(A) the Lord your God as long as you live(B) by keeping all his decrees and commands(C) that I give you, and so that you may enjoy long life.(D) Hear, Israel, and be careful to obey(E) so that it may go well with you and that you may increase greatly(F) in a land flowing with milk and honey,(G) just as the Lord, the God of your ancestors, promised(H) you.

Hear, O Israel: The Lord our God, the Lord is one.[a](I) Love(J) the Lord your God with all your heart(K) and with all your soul and with all your strength.(L) These commandments that I give you today are to be on your hearts.(M) Impress them on your children. Talk about them when you sit at home and when you walk along the road, when you lie down and when you get up.(N) Tie them as symbols on your hands and bind them on your foreheads.(O) Write them on the doorframes of your houses and on your gates.(P)

10 When the Lord your God brings you into the land he swore to your fathers, to Abraham, Isaac and Jacob, to give you—a land with large, flourishing cities you did not build,(Q) 11 houses filled with all kinds of good things you did not provide, wells you did not dig,(R) and vineyards and olive groves you did not plant—then when you eat and are satisfied,(S) 12 be careful that you do not forget(T) the Lord, who brought you out of Egypt, out of the land of slavery.

13 Fear the Lord(U) your God, serve him only(V) and take your oaths(W) in his name.(X) 14 Do not follow other gods, the gods of the peoples around you; 15 for the Lord your God(Y), who is among you, is a jealous God and his anger will burn against you, and he will destroy you from the face of the land. 16 Do not put the Lord your God to the test(Z) as you did at Massah. 17 Be sure to keep(AA) the commands of the Lord your God and the stipulations and decrees he has given you.(AB) 18 Do what is right and good in the Lord’s sight,(AC) so that it may go well(AD) with you and you may go in and take over the good land the Lord promised on oath to your ancestors, 19 thrusting out all your enemies(AE) before you, as the Lord said.

20 In the future, when your son asks you,(AF) “What is the meaning of the stipulations, decrees and laws the Lord our God has commanded you?” 21 tell him: “We were slaves of Pharaoh in Egypt, but the Lord brought us out of Egypt with a mighty hand.(AG) 22 Before our eyes the Lord sent signs and wonders—great and terrible—on Egypt and Pharaoh and his whole household. 23 But he brought us out from there to bring us in and give us the land he promised on oath to our ancestors. 24 The Lord commanded us to obey all these decrees and to fear the Lord our God,(AH) so that we might always prosper and be kept alive, as is the case today.(AI) 25 And if we are careful to obey all this law(AJ) before the Lord our God, as he has commanded us, that will be our righteousness.(AK)

Footnotes

  1. Deuteronomy 6:4 Or The Lord our God is one Lord; or The Lord is our God, the Lord is one; or The Lord is our God, the Lord alone