Add parallel Print Page Options

(A)Noolwekyo muwandiike ekiwandiiko ekirala mu linnya lya Kabaka ku lw’Abayudaaya nga bwe musiima, era mukisseeko akabonero n’empeta ya Kabaka, kubanga tewali kiwandiiko ekiwandiikiddwa mu linnya lya Kabaka era ekiteekeddwako akabonero n’empeta ya Kabaka ekiyinza okujjululwa.”

Read full chapter

(A)Ku lunaku olw’ekkumi n’ebiri gwe mwezi Adali, ekiragiro kya Kabaka lwe kyali kigenda okutuukirizibwa. Ku lunaku olwo abalabe b’Abayudaaya kwe baasuubirira okubafuga, naye ate Abayudaaya ne bafuga abo abaabakyawa.

Read full chapter