Add parallel Print Page Options

10 (A)Falaawo n’agamba nti, “Enkya.” Musa n’agamba nti, “Kijja kubeera nga bw’ogambye, olyoke otegeere nga bwe watali n’omu afaanana nga Mukama Katonda waffe.

Read full chapter

24 (A)“Ayi Mukama Katonda, otandise okundaga nze omuddu wo, omukono gwo ogw’amaanyi n’obukulu bwo obw’ekitiibwa. Kubanga katonda ki ali mu ggulu oba ali ku nsi asobola okukola ebyekyewuunyo bino byonna by’okola, n’emirimu egy’amaanyi bwe gityo gy’okola?

Read full chapter

13 (A)Ekkubo lyo, Ayi Katonda, liri mu watukuvu.
    Tewali katonda yenkana Katonda waffe.

Read full chapter

(A)Buli omu yali ng’ayogera ne munne n’eddoboozi ery’omwanguka nti,

“Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna:
    ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”

Read full chapter

(A)Buli kimu ku biramu bino ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga nga bijjudde amaaso enjuuyi zonna ne wansi. Era buli lunaku emisana n’ekiro, awatali kuwummula, nga bigamba nti,

“Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu,
Mukama Katonda Ayinzabyonna,
Oyo eyaliwo, aliwo, era ajja okubaawo.”

Read full chapter

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

(A)Ayi Mukama, Mukama waffe,
    erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!

Ekitiibwa kyo kitenderezebwa
    okutuuka waggulu mu ggulu.

Read full chapter