Ekyamateeka Olwokubiri 10:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda, era ye Mukama w’abakama, ye Katonda omukulu, nannyini buyinza era Katonda atiibwa, atalina kyekubiira, era atalya nguzi.
Read full chapter
2 Ebyomumirembe 19:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Noolwekyo entiisa ya Mukama ebeere mu mmwe, musale omusango nga mugwekanyizza bulungi, kubanga Mukama Katonda waffe takkiriziganya na butali butuukirivu, era tewali kusosola mu bantu wadde okulya enguzi.”
Read full chapter
Yobu 34:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)atattira balangira ku liiso
era nga tafa ku bagagga kusinga bw’afa ku baavu,
kubanga egyo gye mirimu gy’emikono gye?
Abaruumi 2:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Kubanga Katonda tasosola mu bantu.
Read full chapter
Abaggalatiya 2:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Naye abo abaabalibwa ng’okuba ekintu eky’omuwendo, abataaliko bwe baali gye ndi kubanga Katonda tasosola mu bantu, nze gye ndi tebalina kye bannyongerako,
Read full chapter
Abaefeso 6:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Era nammwe bakama b’abaddu, muyisenga bulungi abaddu bammwe nga temubatiisatiisa, nga mumanyi nti Mukama waabwe, ye Mukama wammwe, ali mu ggulu era ye tasosola mu bantu.
Read full chapter
Abakkolosaayi 3:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)kubanga ayonoona, alisasulwa olw’ebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.
Read full chapter
1 Peetero 1:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Mujjukire nti Kitammwe gwe musaba, asalira omusango buli muntu awatali kusaliriza, musaana mumusseemu ekitiibwa, nga mwetwala ng’abagenyi ku nsi kuno.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.