Isaaya 31:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Naye Abamisiri bantu buntu si Katonda
n’embalaasi zaabwe mibiri bubiri.
Katonda bw’agolola omukono gwe
oyo ayamba, alyesittala,
n’oyo ayambibwa aligwa
era bombi balizikiririra wamu.
Isaaya 30:2-5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)“Baserengeta e Misiri nga tebanneebuuzizzaako,
ne banoonya obuyambi ewa Falaawo,
n’okuva eri ekisiikirize kya Misiri
okuba obuddukiro.
3 (B)Naye obukuumi bwa Falaawo buliswazibwa,
n’ekisiikirize kya Misiri kirikuswaza.
4 (C)Newaakubadde nga balina abakungu mu Zowani
n’ababaka baabwe batuuse e Kanesi,
5 (D)buli muntu aliswazibwa
olw’eggwanga eritabagasa,
abataleeta buyambi newaakubadde okuba ab’omugaso,
okuggyako ensonyi n’ekivume,” bw’ayogera Mukama.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.