Olubereberye 25:29-34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 Lumu Yakobo yali afumba enva, Esawu n’ajja ng’ava ku ttale; enjala ng’emuluma nnyo. 30 Esawu n’agamba Yakobo nti, “Mpa mpute ku nva ezo, kubanga enjala ejula kunzita.” Kyeyava ayitibwa Edomu.
31 Yakobo n’amuddamu nti, “Sooka onguze obukulu bwo.”
32 Esawu n’agamba nti, “Laba Ndikumpi n’okufa, obukulu bungasa ki?”
33 (A)Yakobo n’addamu nti, “Sooka ondayirire.” Awo Esawu n’amulayirira, olwo n’aguza Yakobo obukulu bwe.
34 Yakobo n’alyoka awa Esawu emmere n’enva, n’alya n’anywa, n’agolokoka n’agenda.
Bw’atyo Esawu n’anyooma obukulu bwe.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.