Olubereberye 6:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Mukama n’anakuwala nnyo kubanga yatonda omuntu ku nsi, n’alumwa nnyo mu mutima gwe.
Read full chapter
1 Samwiri 15:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)“Nejjusizza okufuula Sawulo kabaka, kubanga avudde kukungoberera, n’atakolera ku biragiro byange.” Samwiri n’anyolwa nnyo, n’akabira Mukama ekiro kyonna.
Read full chapter
Okuva 12:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Kubanga Mukama ajja kuyita awo ng’agenda okutta Abamisiri; kale bw’anaalaba omusaayi ku mwango gw’oluggi waggulu ne ku mwango mu mbiriizi z’oluggi, oluggi olwo Mukama ajja kuluyitako, era tajja kukkiriza oyo azikiriza kuyingira mu nnyumba zammwe n’okubatta.
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 12:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Amangwago malayika wa Mukama n’amubonereza, n’ajjula envunyu yenna, ne zimulya n’afa, kubanga yakkiriza abantu ne bamusinza, n’atawa Katonda kitiibwa.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.