Yoswa 1:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Tewali n’omu alisobola kubaziyiza ennaku zonna ez’obulamu bwo; nga bwe nabeeranga ne Musa era bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe, sirikuleka wadde okukwabuulira.
Read full chapter
Yoswa 1:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Nga bwe twagonderanga Musa mu byonna naawe bwe tunaakugonderanga tutyo; Mukama Katonda wo abeerenga naawe nga bwe yabeeranga ne Musa.
Read full chapter
1 Samwiri 20:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Naye kitange bw’anaaba ng’amaliridde okukukola akabi, kale Mukama ankole bw’atyo, n’okusingawo, bwe siikutegeeze ne nkusindika ogende weekweke. Mukama abeere naawe, nga bw’abadde ne kitange.
Read full chapter
1 Bassekabaka 1:47
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
47 (A)N’abakungu ba kabaka bazze okusanyukirako mukama waffe Kabaka Dawudi, nga boogera nti, ‘Katonda wo afuule erinnya lya Sulemaani ekkulu n’okusinga eriryo era n’entebe ye ey’obwakabaka enkulu n’okusinga eyiyo!’ Era Kabaka akutamye ng’asinza ku kitanda kye,
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.