Add parallel Print Page Options

Kristo Yazuukira

15 (A)Abooluganda, mbajjukiza Enjiri gye nababuulira era gye mwakkiriza era gye munywereddemu. (B)Mulokolebwa lwa Njiri eyo gye nababuulira, bwe muginywererako, naye bwe kitaba bwe kityo muba mwakkiririza bwereere. (C)Kubanga nabategeeza ekigambo ekikulu ennyo nange kye nnaweebwa ekigamba nti Kristo yafa olw’ebibi byaffe, ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba, (D)era nti yaziikibwa, n’azuukizibwa ku lunaku olwokusatu ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba, (E)era nti yalabibwa Keefa n’oluvannyuma ekkumi n’ababiri. Era yalabibwa abooluganda abasukka ebikumi ebitaano omulundi gumu era abamu ku abo bakyali balamu newaakubadde ng’abalala baafa. (F)Olwo n’alyoka alabikira Yakobo, n’oluvannyuma n’alabikira n’abatume bonna. (G)Oluvannyuma lwa bonna n’alyoka alabikira nange, ng’omwana azaalibbwa nga musowole.

(H)Kubanga nze nsembayo mu batume, Era sisaanira na kuyitibwa mutume, kubanga nayigganya Ekkanisa ya Katonda. 10 (I)Naye olw’ekisa kya Katonda ndi nga bwe ndi kaakano, era ekisa Katonda kye yankwatirwa tekyafa bwereere. Kubanga nakola nnyo okusinga abalala bonna, naye si nze nakola wabula ekisa kya Katonda ekiri nange kye kyakola. 11 Oba nze oba bo, be baakola ennyo ekyo si kikulu, ekikulu kye kino nti twababuulira Enjiri era nammwe ne mugikkiriza.

Okuzuukira kw’Abafu

12 (J)Kale obanga abantu bategeezebwa nti Kristo yazuukizibwa mu bafu lwaki abamu mu mmwe bagamba nti tewali kuzuukira kwa bafu? 13 Kale obanga tewali kuzuukira kwa bafu ne Kristo teyazuukizibwa. 14 (K)Era obanga Kristo teyazuukizibwa, bye tubategeeza tebiriimu, era n’okukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa. 15 (L)Ate era tuba ng’aboogera eby’obulimba ku Katonda, kubanga twakakasa nti Katonda yazuukiza Kristo. Naye teyamuzuukiza bwe kiba ng’abafu tebazuukizibwa. 16 Kale obanga abafu tebazuukizibwa, ne Kristo teyazuukizibwa. 17 (M)Era obanga Kristo teyazuukizibwa okukkiriza kwammwe tekuliimu nsa, era mukyali mu bibi byammwe. 18 Era n’abo abaafa nga bakkiriza Kristo baazikirira. 19 (N)Kale obanga essuubi lyaffe mu Kristo likoma mu bulamu buno bwokka, tuli bakusaasirwa nnyo okusinga abantu bonna.

20 (O)Kyokka ddala Kristo yazuukizibwa mu bafu, era bye bibala ebibereberye eby’abo abaafa. 21 (P)Kuba ng’okufa bwe kwaleetebwa omuntu, era n’okuzuukira kw’abafu kwaleetebwa muntu. 22 (Q)Kuba ng’abantu bonna bwe baafa olwa Adamu, era bwe batyo bonna balifuulibwa abalamu olwa Kristo. 23 (R)Kyokka buli omu mu luwalo lwe, Kristo ye yasooka era bw’alijja ababe ne baddako, 24 (S)olwo enkomerero n’eryoka etuuka, Kristo n’akwasa Katonda Kitaawe obwakabaka; Kristo ng’amaze okuzikiriza obufuzi bwonna, n’obuyinza bwonna era n’amaanyi gonna. 25 (T)Kubanga Kristo agwanidde okufuga okutuusa bw’alissa abalabe be bonna wansi w’ebigere bye. 26 (U)Omulabe we alisembayo okuzikirizibwa kwe Kufa. 27 (V)Kubanga yassa ebintu byonna wansi w’ebigere bye. Naye bw’agamba nti ebintu byonna biri wansi we, kitegeeza nti aggyeko oli ey’amusobozesa okufuga ebintu byonna. 28 (W)Katonda bw’alimala okussa byonna mu buyinza bwa Kristo, olwo Kristo yennyini, Omwana we, n’alyoka afugibwa Katonda eyamuwa okufuga byonna. Era olwo Katonda n’alyoka afugira ddala byonna.

29 Kale obanga abafu tebazuukizibwa, abo ababatizibwa ku lw’abafu balikola batya? Era kale lwaki babatizibwa ku lwabwe? 30 (X)Era ffe lwaki tuli mu kabi buli kaseera? 31 (Y)Abooluganda, olw’okwenyumiriza kwe munninamu, era kwe nnina mu Kristo Yesu Mukama waffe, nkakasa nti nfa buli lunaku. 32 (Z)Kale obanga nze omuntu obuntu nalwana n’ensolo enkambwe mu Efeso, kingasa ki? Obanga abafu tebazuukizibwa,

“Kale tulye tunywe
    kubanga enkya tuli ba kufa.”

33 Temulimbibwalimbibwanga, kubanga “emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” 34 Mweddemu, mutambulirenga mu butuukirivu mulekeraawo okukola ebibi, kubanga abamu mu mmwe tebamanyi Katonda. Kino nkyogera kubakwasa nsonyi.

Okuzuukira kw’Omubiri

35 (AA)Naye omuntu ayinza okubuuza nti, “Abafu bazuukizibwa batya?” Era nti, mubiri gwa ngeri ki gwe bajja nagwo? 36 (AB)Musirusiru ggwe! Ensigo gy’osiga temeruka nga tennafa. 37 Era ensigo eyo gy’osiga eba mpeke buweke; so si ekirivaamu oba ya ŋŋaano, oba ya ngeri ndala. 38 (AC)Naye Katonda agiwa omubiri nga bw’ayagala, era buli ngeri ya nsigo agiwa omubiri gwayo. 39 Kubanga emibiri gyonna tegiba gya ngeri emu. Waliwo omubiri ogw’abantu, waliwo ogw’ensolo, waliwo ogw’ennyonyi, era waliwo n’ogw’ebyennyanja. 40 Noolwekyo waliwo emibiri egy’omu ggulu, n’emibiri egy’omu nsi. Naye ekitiibwa ky’emibiri egy’omu ggulu kirala, era n’eky’egy’omu nsi kirala. 41 Waliwo ekitiibwa ky’enjuba, waliwo eky’omwezi, era waliwo ekitiibwa eky’emmunyeenye. Naye era n’emmunyeenye tezenkanankana mu kwaka kubanga buli munyeenye ya njawulo mu kwaka.

42 (AD)Era bwe kiri mu kuzuukira. Omubiri guziikibwa nga gwa kuvunda, ne guzuukizibwa nga si gwa kuvunda. 43 (AE)Guziikibwa nga si gwa kitiibwa, naye ne guzuukizibwa nga gujjudde ekitiibwa. Guziikibwa nga munafu, naye guzuukizibwa nga gwa maanyi. 44 (AF)Guziikibwa nga mubiri bubiri, naye guzuukizibwa nga mubiri gwa mwoyo.

Kale obanga waliwo omubiri obubiri, era waliwo omubiri ogw’omwoyo, 45 (AG)kyekyava kiwandiikibwa nti, “Adamu, omuntu eyasooka, yatondebwa ng’alina obulamu.” Kyokka Adamu ow’oluvannyuma ye Mwoyo aleeta obulamu. 46 Naye eky’omwoyo si kye kyasooka, wabula eky’omubiri obubiri kye kyasooka, n’oluvannyuma eky’omwoyo ne kijja. 47 (AH)Omuntu eyasooka yava mu ttaka, yakolebwa mu nfuufu. Ye omuntu owookubiri yava mu ggulu. 48 (AI)Ng’eyakolebwa mu nfuufu bw’ali, n’abo abaakolebwa mu nfuufu bwe bali. 49 (AJ)Era nga bwe tufaanana oyo eyakolebwa mu nfuufu, era bwe tutyo bwe tulifaanana oyo eyava mu ggulu.

50 (AK)Abooluganda, kye ŋŋamba kye kino nti omubiri guno ogw’oku nsi, ogw’ennyama n’omusaayi, teguyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda. Emibiri gyaffe egivunda tegisobola kuba gya lubeerera. 51 (AL)Naye leka mbabuulire ekyama: Si ffenna abalifa, naye eŋŋombe ey’enkomerero bw’erivuga ffenna tulifuusibwa 52 (AM)mu kaseera katono ng’okutemya kikowe. Kubanga eŋŋombe erivuga, n’abafu balizuukizibwa, nga tebakyaddayo kufa era ffenna tulifuusibwa. 53 (AN)Kubanga omubiri guno oguvunda gwa kufuuka ogutavunda, era omubiri guno ogufa gwa kufuuka ogutafa. 54 (AO)Omubiri guno oguvunda bwe gulifuuka ogutavunda, ogufa ne gufuuka ogutafa, olwo Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, “Okufa kuwanguddwa.”

55 (AP)“Ggwe kufa, obuwanguzi bwo buluwa?
    Ggwe kufa, amaanyi go agalumya galuwa?”

56 (AQ)Obuyinza obulumya buva mu kibi, n’amaanyi g’ekibi gava mu mateeka. 57 (AR)Kyokka Katonda yeebazibwe atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.

58 (AS)Noolwekyo, baganda bange abaagalwa, mubenga banywevu era abatasagaasagana nga mweyongeranga bulijjo okukola omulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi nti okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.

The Resurrection of Christ

15 Now, brothers and sisters, I want to remind you of the gospel(A) I preached to you,(B) which you received and on which you have taken your stand. By this gospel you are saved,(C) if you hold firmly(D) to the word I preached to you. Otherwise, you have believed in vain.

For what I received(E) I passed on to you(F) as of first importance[a]: that Christ died for our sins(G) according to the Scriptures,(H) that he was buried,(I) that he was raised(J) on the third day(K) according to the Scriptures,(L) and that he appeared to Cephas,[b](M) and then to the Twelve.(N) After that, he appeared to more than five hundred of the brothers and sisters at the same time, most of whom are still living, though some have fallen asleep.(O) Then he appeared to James,(P) then to all the apostles,(Q) and last of all he appeared to me also,(R) as to one abnormally born.

For I am the least of the apostles(S) and do not even deserve to be called an apostle, because I persecuted(T) the church of God.(U) 10 But by the grace(V) of God I am what I am, and his grace to me(W) was not without effect. No, I worked harder than all of them(X)—yet not I, but the grace of God that was with me.(Y) 11 Whether, then, it is I or they,(Z) this is what we preach, and this is what you believed.

The Resurrection of the Dead

12 But if it is preached that Christ has been raised from the dead,(AA) how can some of you say that there is no resurrection(AB) of the dead?(AC) 13 If there is no resurrection of the dead, then not even Christ has been raised. 14 And if Christ has not been raised,(AD) our preaching is useless and so is your faith. 15 More than that, we are then found to be false witnesses about God, for we have testified about God that he raised Christ from the dead.(AE) But he did not raise him if in fact the dead are not raised. 16 For if the dead are not raised, then Christ has not been raised either. 17 And if Christ has not been raised, your faith is futile; you are still in your sins.(AF) 18 Then those also who have fallen asleep(AG) in Christ are lost. 19 If only for this life we have hope in Christ, we are of all people most to be pitied.(AH)

20 But Christ has indeed been raised from the dead,(AI) the firstfruits(AJ) of those who have fallen asleep.(AK) 21 For since death came through a man,(AL) the resurrection of the dead(AM) comes also through a man. 22 For as in Adam all die, so in Christ all will be made alive.(AN) 23 But each in turn: Christ, the firstfruits;(AO) then, when he comes,(AP) those who belong to him.(AQ) 24 Then the end will come, when he hands over the kingdom(AR) to God the Father after he has destroyed all dominion, authority and power.(AS) 25 For he must reign(AT) until he has put all his enemies under his feet.(AU) 26 The last enemy to be destroyed is death.(AV) 27 For he “has put everything under his feet.”[c](AW) Now when it says that “everything” has been put under him, it is clear that this does not include God himself, who put everything under Christ.(AX) 28 When he has done this, then the Son himself will be made subject to him who put everything under him,(AY) so that God may be all in all.(AZ)

29 Now if there is no resurrection, what will those do who are baptized for the dead? If the dead are not raised at all, why are people baptized for them? 30 And as for us, why do we endanger ourselves every hour?(BA) 31 I face death every day(BB)—yes, just as surely as I boast about you in Christ Jesus our Lord. 32 If I fought wild beasts(BC) in Ephesus(BD) with no more than human hopes, what have I gained? If the dead are not raised,

“Let us eat and drink,
    for tomorrow we die.”[d](BE)

33 Do not be misled:(BF) “Bad company corrupts good character.”[e](BG) 34 Come back to your senses as you ought, and stop sinning; for there are some who are ignorant of God(BH)—I say this to your shame.(BI)

The Resurrection Body

35 But someone will ask,(BJ) “How are the dead raised? With what kind of body will they come?”(BK) 36 How foolish!(BL) What you sow does not come to life unless it dies.(BM) 37 When you sow, you do not plant the body that will be, but just a seed, perhaps of wheat or of something else. 38 But God gives it a body as he has determined, and to each kind of seed he gives its own body.(BN) 39 Not all flesh is the same: People have one kind of flesh, animals have another, birds another and fish another. 40 There are also heavenly bodies and there are earthly bodies; but the splendor of the heavenly bodies is one kind, and the splendor of the earthly bodies is another. 41 The sun has one kind of splendor,(BO) the moon another and the stars another;(BP) and star differs from star in splendor.

42 So will it be(BQ) with the resurrection of the dead.(BR) The body that is sown is perishable, it is raised imperishable;(BS) 43 it is sown in dishonor, it is raised in glory;(BT) it is sown in weakness, it is raised in power; 44 it is sown a natural body, it is raised a spiritual body.(BU)

If there is a natural body, there is also a spiritual body. 45 So it is written: “The first man Adam became a living being”[f];(BV) the last Adam,(BW) a life-giving spirit.(BX) 46 The spiritual did not come first, but the natural, and after that the spiritual.(BY) 47 The first man was of the dust of the earth;(BZ) the second man is of heaven.(CA) 48 As was the earthly man, so are those who are of the earth; and as is the heavenly man, so also are those who are of heaven.(CB) 49 And just as we have borne the image of the earthly man,(CC) so shall we[g] bear the image of the heavenly man.(CD)

50 I declare to you, brothers and sisters, that flesh and blood(CE) cannot inherit the kingdom of God,(CF) nor does the perishable inherit the imperishable.(CG) 51 Listen, I tell you a mystery:(CH) We will not all sleep,(CI) but we will all be changed(CJ) 52 in a flash, in the twinkling of an eye, at the last trumpet. For the trumpet will sound,(CK) the dead(CL) will be raised imperishable, and we will be changed. 53 For the perishable(CM) must clothe itself with the imperishable,(CN) and the mortal with immortality. 54 When the perishable has been clothed with the imperishable, and the mortal with immortality, then the saying that is written will come true: “Death has been swallowed up in victory.”[h](CO)

55 “Where, O death, is your victory?
    Where, O death, is your sting?”[i](CP)

56 The sting of death is sin,(CQ) and the power of sin is the law.(CR) 57 But thanks be to God!(CS) He gives us the victory through our Lord Jesus Christ.(CT)

58 Therefore, my dear brothers and sisters, stand firm. Let nothing move you. Always give yourselves fully to the work of the Lord,(CU) because you know that your labor in the Lord is not in vain.(CV)

Footnotes

  1. 1 Corinthians 15:3 Or you at the first
  2. 1 Corinthians 15:5 That is, Peter
  3. 1 Corinthians 15:27 Psalm 8:6
  4. 1 Corinthians 15:32 Isaiah 22:13
  5. 1 Corinthians 15:33 From the Greek poet Menander
  6. 1 Corinthians 15:45 Gen. 2:7
  7. 1 Corinthians 15:49 Some early manuscripts so let us
  8. 1 Corinthians 15:54 Isaiah 25:8
  9. 1 Corinthians 15:55 Hosea 13:14