Add parallel Print Page Options

(A)Omuntu yenna mu mmwe bw’aba n’ensonga ne munne, agitwala eri abatali batuukirivu oba eri abatukuvu? (B)Oba temumanyi ng’abatukuvu be balisalira ensi omusango? Kale obanga mmwe mulisalira ensi omusango, temusobola kusala nsonga ntono eziri mu mmwe? Temumanyi nga ffe tulisalira bamalayika omusango, okwo nga totaddeeko bintu bya mu bulamu buno? Kale bwe muba n’ensonga lwaki muzitwala mu abo abanyoomebwa ekkanisa ne mubalonda okuba abalamuzi? (C)Njagala kubakwasa nsonyi; ddala mu mmwe temuli muntu n’omu alina magezi asobola okusala ensonga wakati w’abooluganda? (D)Naye owooluganda ayinza okuwoza n’owooluganda mu maaso g’abatali bakkiriza?

Read full chapter

Ebisembayo

17 (A)Noolwekyo mbakuutira abooluganda mwegenderezenga abo abaleeta enjawukana, n’eby’esittaza ebikontana n’okuyigiriza kwe mwayiga, era mubakubenga amabega.

Read full chapter

Abalabula obutagayaalanga

(A)Abooluganda abaagalwa, mbakuutira mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo ne mu buyinza bwe, mwewalenga abagayaavu abatayagala kukola mirimu ne balemwa okugoberera ekyokulabirako kye twabateerawo.

Read full chapter

14 (A)Era omuntu yenna bw’atagonderanga biragiro byaffe mu bbaluwa eno, oyo mumwetegereze, muleme kukolagananga naye, ensonyi ziryoke zimukwate.

Read full chapter