Add parallel Print Page Options

30 (A)era nga bwe nakulayirira mu maaso ga Mukama, Katonda wa Isirayiri, Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka mu kifo kyange.”

Read full chapter

(A)Laba, omwana owoobulenzi alizaalibwa gy’oli, era aliba omusajja ow’emirembe, ne muwa emirembe eri abalabe bonna enjuuyi zonna. Aliyitibwa Sulemaani. Ndiwa Isirayiri emirembe n’obutebenkevu ku mulembe gwe. 10 (B)Oyo ye alizimba ennyumba ku lw’erinnya lyange. Aliba mutabani wange, nange ndiba kitaawe. Era ndinyweza entebe ye ey’obwakabaka bwe mu Isirayiri emirembe gyonna.’ 

11 (C)“Kaakano, mwana wange, Mukama abeere naawe, era olabe omukisa, ozimbire Mukama Katonda wo ennyumba, nga bwe yayogera. 12 (D)Mukama akuwe amagezi ag’okwawula n’okutegeera ng’okulembera Isirayiri, olyoke okuumenga amateeka ga Mukama Katonda wo. 13 (E)Olwo onoolaba omukisa bw’oneekuumanga ebiragiro n’amateeka Mukama ge yawa Musa ku lwa Isirayiri. Beera n’amaanyi era gguma omwoyo, totya so totekemuka.

Read full chapter