Add parallel Print Page Options

Isirayiri Bajeemera Lekobowaamu

12 Lekobowaamu n’alaga e Sekemu, Abayisirayiri bonna gye baali bakuŋŋaanidde okumufuula kabaka. (A)Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe yawulira ekyo, ng’ali e Misiri, gye yali yeewaŋŋangusirizza, n’akomawo. Abantu ne batumira Yerobowaamu, ye n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri ne bagenda ewa Lekobowaamu, ne bamugamba nti, (B)“Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito, naye kaakano wewula ku mirimu emizibu ne ku kikoligo ekizito kye yatuteekako, naffe tunaakuweereza.”

Lekobowaamu n’abaddamu nti, “Mumpe ebbanga lya nnaku ssatu, n’oluvannyuma nnaabaddamu.” Abantu ne beetambulira.

(C)Awo kabaka Lekobowaamu n’agenda ne yeebuuza ku bakadde abaaweerezanga kitaawe Sulemaani, mu biseera bwe yali ng’akyali mulamu. N’ababuuza nti, “Mumpa magezi ki, ku nsonga abantu bano gye bansabye?”

(D)Ne bamuddamu nti, “Leero bw’onoobeera omuwulize eri abantu bano ne weetoowaza, n’obaweereza, era n’obaddamu n’eggonjebwa, kale banaabeeranga baweereza bo.”

Naye Lekobowaamu n’atawuliriza magezi abakadde ge baamuwa, n’agenda ne yeebuuza ku bavubuka be yali akuze nabo, era nga be bamuweereza. N’ababuuza nti, “Mumpa magezi ki okuddamu abantu abasabye okuwewula ku kikoligo kitange kye yabateekako?”

10 Abavubuka abaakulira awamu naye ne bamuddamu nti, “Gamba abantu abo abakusabye nti, ‘Okendeeze ku kikoligo kitaawo kye yabateekako nti, “Engalo yange eya nasswi esinga ekiwato kya kitange obunene. 11 Kitange yabateekako ekikoligo ekizito, naye nze ndyongera ku kikoligo kyammwe. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze nnaabakangavvulanga n’enjaba ez’obusagwa.” ’ ”

12 Oluvannyuma lw’ennaku ssatu, Yerobowaamu n’abantu bonna, ne baddayo eri Lekobowaamu, nga bwe yali abagambye okudda oluvannyuma lw’ennaku essatu. 13 Awo kabaka n’addamu abantu n’ebboggo, n’agaana amagezi abakadde ge baamuwa, 14 (E)n’agoberera ag’abavubuka, n’ayogera nti, “Kitange yafuula ekikoligo kyammwe okuba ekizito, naye nze nnaayongera ku kikoligo kyammwe. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nno nze nnaabakangavvula na njaba ez’obusagwa.” 15 (F)Kabaka n’atawuliriza bantu. Bino byonna byabaawo Mukama atuukirize ekigambo kye yayogera eri Yerobowaamu mutabani wa Nebati ng’ayita mu Akiya Omusiiro.

16 (G)Awo Isirayiri yenna bwe baalaba nga kabaka agaanye okubawuliriza, ne bamuddamu nti,

“Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi,
    oba kitundu ki kye tulina mu mutabani wa Yese?
Mudde mu weema zammwe ayi Isirayiri!
    Weerabirire ggwe ennyumba ya Dawudi.”

Awo Abayisirayiri[a] ne beddirayo ewaabwe. 17 (H)Naye abaana ba Isirayiri abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, ne bafugibwa Lekobowaamu.

18 (I)Lekobowaamu yalagira Adolaamu eyakuliranga emirimu egy’obuwaze okugenda eri Abayisirayiri, okubalagira eby’okukola, naye ne bamukuba amayinja ne bamutta. Naye ye Kabaka Lekobowaamu n’awona, n’alinnya eggaali lye n’addukira e Yerusaalemi. 19 (J)Bw’atyo Isirayiri n’ajeemera ennyumba ya Dawudi n’okutuusa leero.

20 (K)Abayisirayiri bonna bwe baawulira nti Yerobowaamu akomyewo, ne bamutumira ajje eri ekibiina, ne bamutikkira okuba kabaka wa Isirayiri yonna. Ekika kya Yuda kyokka kye kyasigala nga kigoberera ennyumba ya Dawudi.

21 (L)Awo Lekobowaamu bwe yatuuka mu Yerusaalemi n’akuŋŋaanya ennyumba ya Yuda yonna, n’ekika kya Benyamini, abasajja abalwanyi emitwalo kkumi na munaana, okulwanagana n’ennyumba ya Isirayiri, asobole okweddiza obwakabaka.

22 (M)Naye ekigambo kya Katonda ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nti, 23 “Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka wa Yuda, n’ennyumba ya Yuda yonna n’eya Benyamini, era n’abantu bonna nti, 24 ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Temwambuka kulwana ne baganda bammwe, Abayisirayiri. Buli omu ku mmwe addeyo eka kubanga kino nze nkisazeewo.’ ” Awo ne bagondera ekigambo kya Mukama, ne baddayo ewaabwe, nga Mukama bwe yalagira.

Yerobowaamu Asinza Ennyana eza Zaabu e Beseri n’e Ddaani

25 (N)Awo Yerobowaamu n’azimba Sekemu mu Efulayimu ensi ey’ensozi, era n’abeera eyo. Eyo gye yava n’agenda n’azimba Penieri.

26 Yerobowaamu ne yeerowooza munda ye nti, “Obwakabaka sikulwa nga budda mu nnyumba ya Dawudi! 27 (O)Abantu bano bwe banayambukanga okuwaayo ebiweebwayo mu yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi, olunaku olumu emitima gyabwe giyinza okukyukira mukama waabwe, Lekobowaamu, kabaka wa Yuda. Balinzita ne badda gy’ali.”

28 (P)Awo Kabaka Yerobowaamu n’aweebwa amagezi okukola ennyana bbiri eza zaabu. N’agamba abantu nti, “Kijja kubazitoowerera nnyo okwambukanga e Yerusaalemi. Baabano bakatonda bammwe, Ayi Isirayiri, abaabaggya mu Misiri.” 29 (Q)Emu n’agiteeka mu Beseri n’endala mu Ddaani. 30 (R)Ekintu ekyo ne kiba kibi nnyo, kubanga abantu baatuuka n’okugenda e Ddaani okusinza ekifaananyi ky’ennyana ekyali kiteekeddwa eyo.

31 (S)Yerobowaamu n’azimba amasabo mu bifo ebigulumivu n’alonda bakabona[b] ng’abaggya mu bantu abaabulijjo, newaakubadde nga tebaali ba kika kya Leevi. 32 (T)N’akola embaga ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogw’omunaana, okufaanana n’embaga ebeerawo mu Yuda, era n’awaayo ebyokebwa ku kyoto. Kino yakikola mu Beseri ng’awaayo ssaddaaka eri ennyana ze yakola. N’assa bakabona mu bifo ebigulumivu bye yali akoze e Beseri. 33 (U)Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogw’omunaana gwe yeerondera, n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kye yazimba e Beseri. Era n’assaawo embaga Abayisirayiri gye baakuumanga, n’ayambukanga ne ku kyoto okuwaayo ebyokebwa.

Footnotes

  1. 12:16 Abayisirayiri aboogerebwako wano be b’omu bukiikakkono
  2. 12:31 Yerobowaamu yalonda bakabona abataali ba kika kya Leevi, kubanga Abaleevi abasinga obungi baali baddukidde eri Lekobowaamu (2By 11:13-17)

Israel Rebels Against Rehoboam(A)

12 Rehoboam went to Shechem,(B) for all Israel had gone there to make him king. When Jeroboam son of Nebat heard this (he was still in Egypt, where he had fled(C) from King Solomon), he returned from[a] Egypt. So they sent for Jeroboam, and he and the whole assembly of Israel went to Rehoboam and said to him: “Your father put a heavy yoke(D) on us, but now lighten the harsh labor and the heavy yoke he put on us, and we will serve you.”

Rehoboam answered, “Go away for three days and then come back to me.” So the people went away.

Then King Rehoboam consulted the elders(E) who had served his father Solomon during his lifetime. “How would you advise me to answer these people?” he asked.

They replied, “If today you will be a servant to these people and serve them and give them a favorable answer,(F) they will always be your servants.”

But Rehoboam rejected(G) the advice the elders gave him and consulted the young men who had grown up with him and were serving him. He asked them, “What is your advice? How should we answer these people who say to me, ‘Lighten the yoke your father put on us’?”

10 The young men who had grown up with him replied, “These people have said to you, ‘Your father put a heavy yoke on us, but make our yoke lighter.’ Now tell them, ‘My little finger is thicker than my father’s waist. 11 My father laid on you a heavy yoke; I will make it even heavier. My father scourged you with whips; I will scourge you with scorpions.’”

12 Three days later Jeroboam and all the people returned to Rehoboam, as the king had said, “Come back to me in three days.” 13 The king answered the people harshly. Rejecting the advice given him by the elders, 14 he followed the advice of the young men and said, “My father made your yoke heavy; I will make it even heavier. My father scourged(H) you with whips; I will scourge you with scorpions.” 15 So the king did not listen to the people, for this turn of events was from the Lord,(I) to fulfill the word the Lord had spoken to Jeroboam son of Nebat through Ahijah(J) the Shilonite.

16 When all Israel saw that the king refused to listen to them, they answered the king:

“What share(K) do we have in David,
    what part in Jesse’s son?
To your tents, Israel!(L)
    Look after your own house, David!”

So the Israelites went home.(M) 17 But as for the Israelites who were living in the towns of Judah,(N) Rehoboam still ruled over them.

18 King Rehoboam sent out Adoniram,[b](O) who was in charge of forced labor, but all Israel stoned him to death.(P) King Rehoboam, however, managed to get into his chariot and escape to Jerusalem. 19 So Israel has been in rebellion against the house of David(Q) to this day.

20 When all the Israelites heard that Jeroboam had returned, they sent and called him to the assembly and made him king over all Israel. Only the tribe of Judah remained loyal to the house of David.(R)

21 When Rehoboam arrived in Jerusalem, he mustered all Judah and the tribe of Benjamin—a hundred and eighty thousand able young men—to go to war(S) against Israel and to regain the kingdom for Rehoboam son of Solomon.

22 But this word of God came to Shemaiah(T) the man of God:(U) 23 “Say to Rehoboam son of Solomon king of Judah, to all Judah and Benjamin, and to the rest of the people, 24 ‘This is what the Lord says: Do not go up to fight against your brothers, the Israelites. Go home, every one of you, for this is my doing.’” So they obeyed the word of the Lord and went home again, as the Lord had ordered.

Golden Calves at Bethel and Dan

25 Then Jeroboam fortified Shechem(V) in the hill country of Ephraim and lived there. From there he went out and built up Peniel.[c](W)

26 Jeroboam thought to himself, “The kingdom will now likely revert to the house of David. 27 If these people go up to offer sacrifices at the temple of the Lord in Jerusalem,(X) they will again give their allegiance to their lord, Rehoboam king of Judah. They will kill me and return to King Rehoboam.”

28 After seeking advice, the king made two golden calves.(Y) He said to the people, “It is too much for you to go up to Jerusalem. Here are your gods, Israel, who brought you up out of Egypt.”(Z) 29 One he set up in Bethel,(AA) and the other in Dan.(AB) 30 And this thing became a sin;(AC) the people came to worship the one at Bethel and went as far as Dan to worship the other.[d]

31 Jeroboam built shrines(AD) on high places and appointed priests(AE) from all sorts of people, even though they were not Levites. 32 He instituted a festival on the fifteenth day of the eighth(AF) month, like the festival held in Judah, and offered sacrifices on the altar. This he did in Bethel,(AG) sacrificing to the calves he had made. And at Bethel he also installed priests at the high places he had made. 33 On the fifteenth day of the eighth month, a month of his own choosing, he offered sacrifices on the altar he had built at Bethel.(AH) So he instituted the festival for the Israelites and went up to the altar to make offerings.

Footnotes

  1. 1 Kings 12:2 Or he remained in
  2. 1 Kings 12:18 Some Septuagint manuscripts and Syriac (see also 4:6 and 5:14); Hebrew Adoram
  3. 1 Kings 12:25 Hebrew Penuel, a variant of Peniel
  4. 1 Kings 12:30 Probable reading of the original Hebrew text; Masoretic Text people went to the one as far as Dan