Add parallel Print Page Options

33 (A)Oluvannyuma lw’ekigambo ekyo Yerobowaamu n’atakyuka kuleka amakubo ge amabi, naye ne yeeyongera nate okussaawo bakabona ab’ebifo ebigulumivu ng’abaggya mu bantu abaabulijjo. Buli eyayagalanga okubeera kabona, n’amwawulanga okubeera mu bifo ebigulumivu.

Read full chapter

31 (A)Yerobowaamu n’azimba amasabo mu bifo ebigulumivu n’alonda bakabona[a] ng’abaggya mu bantu abaabulijjo, newaakubadde nga tebaali ba kika kya Leevi.

Read full chapter

Footnotes

  1. 12:31 Yerobowaamu yalonda bakabona abataali ba kika kya Leevi, kubanga Abaleevi abasinga obungi baali baddukidde eri Lekobowaamu (2By 11:13-17)

(A)Tebasaana kwongera kuwangayo biweebwayo byabwe eri bakatonda be beekoledde mu kifaananyi ky’embuzi, be bakola nabyo eby’obwamalaaya[a]. Eryo linaabanga tteeka lyabwe lya lubeerera n’okuyita mu mirembe egigenda okuddawo.

Read full chapter

Footnotes

  1. 17:7 eby’obwamalaaya Katonda ageraageranya okusinza ebitali ye, ku kukola ebikolwa eby’obwamalaaya

28 (A)Awo Kabaka Yerobowaamu n’aweebwa amagezi okukola ennyana bbiri eza zaabu. N’agamba abantu nti, “Kijja kubazitoowerera nnyo okwambukanga e Yerusaalemi. Baabano bakatonda bammwe, Ayi Isirayiri, abaabaggya mu Misiri.”

Read full chapter

(A)“Kaakano mulowooza nti muyinza okwaŋŋanga obwakabaka bwa Mukama obuli mu mikono gy’abazzukulu ba Dawudi, kubanga muli ekibiina kinene, abalina n’ennyana eza zaabu Yerobowaamu ze yabakolera okuba bakatonda bammwe abalala?

Read full chapter