1 Bassekabaka 14:26-28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)N’atwala eby’obugagga eby’omu yeekaalu ya Mukama, n’ebyobugagga eby’omu lubiri lwa kabaka byonna, ng’okwo kw’otadde engabo eza zaabu Sulemaani ze yali akoze. 27 Awo kabaka Lekobowaamu n’akola engabo ez’ebikomo okuzzaawo ziri, era n’azikwasa abaduumizi b’abambowa abaakuumanga wankaaki w’olubiri lwa kabaka. 28 Buli Kabaka lwe yalaganga mu yeekaalu ya Mukama, abambowa ne bambalira engabo ezo, era Oluvannyuma ne bazizaayo mu kisenge ky’abambowa we zaaterekebwanga.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.