Add parallel Print Page Options

18 (A)Awo Asa n’addira effeeza ne zaabu yonna eyali esigadde mu ggwanika lya yeekaalu ya Mukama n’ey’olubiri lwe, n’abikwasa abakungu be, n’abiweereza Benikadadi mutabani wa Tabulimmoni, muzzukulu wa Keziyoni, eyali kabaka wa Busuuli ng’afugira e Ddamasiko.

Read full chapter

Benikadadi Alumba Samaliya

20 (A)Awo Benikadadi kabaka w’e Busuuli n’akuŋŋaanya eggye lye lyonna wamu ne bakabaka amakumi asatu mu babiri n’embalaasi n’amagaali gaabwe, bonna ne bambuka okuzingiza Samaliya n’okulwana nakyo.

Read full chapter

Kazayeeri Atta Benikadadi

(A)Erisa n’agenda e Ddamasiko n’asanga Benikadadi kabaka w’e Busuuli ng’alwadde. Kabaka bwe yategeezebwa nti, “Omusajja wa Katonda atuuse mu kitundu,”

Read full chapter

52 (A)Banaazingizanga ebibuga byo byonna mu nsi yo yonna okutuusa ebisenge ebiwanvu eby’ebigo bye weesiga lwe birigwa wansi. Banaazingizanga ebibuga byonna mu nsi yonna Mukama Katonda wo gy’akuwa.

Read full chapter