Add parallel Print Page Options

20 (A)Benikadadi n’akkiriziganya ne kabaka Asa era n’aweereza abaduumizi b’eggye lye okulumba ebibuga bya Isirayiri. N’akuba Iyoni, ne Ddaani, ne Aberubesumaaka ne Kinnerosi yonna ng’okwo kw’otadde Nafutaali.

Read full chapter

29 (A)Mu biro bya Peka kabaka wa Isirayiri, Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli n’alumba ebibuga: by’e Iyoni, n’e Aberubesumaaka, n’e Yanoa, n’e Kedesi, n’e Kazoli, n’e Gireyaadi n’e Ggaliraaya, n’ensi yonna eya Nafutaali, abantu baayo n’abatwala nga basibe e Bwasuli.

Read full chapter

32 “Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ku bikwata ku kabaka w’e Bwasuli, nti,

“ ‘Kabaka oyo taliyingira mu kibuga kino,
    wadde okulasayo akasaale.
Talikisemberera n’engabo
    newaakubadde okutuumako ekifunvu ng’akitaayiza.

Read full chapter

33 “Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ku bikwata ku Kabaka w’e Bwasuli nti,

“Kabaka oyo taliyingira mu kibuga kino
    wadde okulasayo akasaale.
Talikisemberera n’engabo
    newaakubadde okutuumako ekifunvu ng’akitaayiza.

Read full chapter

(A)Bw’ati Mukama Katonda ow’Eggye bw’agamba nti,

“Muteme emiti mukole entuumo
    muzingize Yerusaalemi.
Ekibuga kino kiteekwa okubonerezebwa kyonna,
    kubanga kijjudde bujoozi bwerere.

Read full chapter

24 (A)“Laba entuumo z’omulabe z’atuumye okuzinda ekibuga okukiwamba n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli, ekibuga kigenda kuweebwayo eri Abakaludaaya abakirumba. Ekyo kye wagamba kituukiridde nga kaakano bw’olaba.

Read full chapter