Add parallel Print Page Options

26 (A)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu ngeri za kitaawe ne mu kibi kye, ebyaleetera Isirayiri okwonoona.

Read full chapter

30 (A)Akabu mutabani wa Omuli n’akola ebibi mu maaso ga Mukama okusinga bonna abaamusooka. 31 (B)Teyakoma ku kukola bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, naye era n’awasa ne Yezeberi muwala wa Esubaali kabaka w’Abasidoni, era n’atandika okuweereza n’okusinza Baali. 32 (C)Yazimbira Baali ekyoto mu ssabo lya Baali lye yazimba mu Samaliya.

Read full chapter

24 (A)Tovuunamiranga bakatonda baabwe, so tobaweerezanga, era tokwatanga mpisa zaabwe, wabula obabetetaranga ddala, n’omenyaamenya n’empagi zaabwe.

Read full chapter

Okuttibwa kw’Abaweereza ba Baali

18 (A)Awo Yeeku n’akuŋŋaanya abantu bonna, n’abagamba nti, “Akabu yaweerezaako Baali ebbanga ttono naye Yeeku anaamuweereza okusingawo.

Read full chapter

26 (A)Ne bafulumya empagi ezaali mu ssabo lya Baali, ne bazookya. 27 (B)Ne bamenyaamenya empagi ya Baali, ne bamenyaamenya ne ssabo lya Baali, ne balifuula kabuyonjo ne leero.

28 (C)Awo Yeeku n’amalirawo ddala okusinza kwa Baali mu Isirayiri.

Read full chapter