Add parallel Print Page Options

12 (A)Simanyi Mwoyo wa Mukama gy’anaakutwala nga kyenzije nveewo. Bwe nnaagenda ne ntegeeza Akabu n’atakusangawo, ajja kunzita, ate nga nze omuddu wo okuva mu buto bwange, nsinza Mukama.

Read full chapter

16 (A)Ne bamugamba nti, “Laba, ffe abaddu bo tulina abasajja abazira amakumi ataano. Bagende banoonye mukama wo, osanga Omwoyo wa Mukama amututte n’amuteeka ku bumu ku busozi oba mu kiwonvu.”

Erisa n’abaddamu nti, “Temutawaana, era temubatuma.”

Read full chapter

12 (A)Awo Omwoyo n’ansitula, ne mpulira emabega wange eddoboozi ng’okuwuluguma okunene nga lyogera nti, “Ekitiibwa kya Mukama kyebazibwe mu kifo gy’abeera.”

Read full chapter

14 Omwoyo n’ansitula n’antwala, ne ŋŋendera mu buyinike ne mu busungu, ng’omukono gwa Mukama ogw’amaanyi guli ku nze.

Read full chapter

(A)N’agolola ekyalabika ng’omukono n’akwata enviiri zange. Omwoyo n’ansitula wakati w’ensi n’eggulu mu kwolesebwa kwa Katonda n’antwala e Yerusaalemi ku mulyango ogw’oluggi olutunuulira Obukiikakkono olw’oluggya olw’omunda ogutunuulira Obukiikakkono, awaali bakatonda abalala abaleetera Katonda obuggya.

Read full chapter

Abakulembeze ba Isirayiri Basalirwa Omusango

11 (A)Awo Omwoyo n’ansitula n’antwala ku luggi olw’ebuvanjuba olw’ennyumba ya Mukama. Ku mulyango awo waaliwo abasajja amakumi abiri mu bataano wakati mu bo nga mwe muli Yaazaniya mutabani wa Azuli ne Peratiya mutabani wa Benaya, abakulembeze b’abantu.

Read full chapter

24 (A)Omwoyo n’ansitula mu kwolesebwa okw’Omwoyo wa Katonda n’antwala mu Bukaludaaya eri abaawaŋŋangusibwa.

Read full chapter

(A)Omwoyo n’ansitula, n’andeeta mu luggya olw’omunda, n’ekitiibwa kya Mukama ne kijjula yeekaalu.

Read full chapter

(A)Waliwo omusajja wa Kristo gwe mmanyi, emyaka kkumi n’ena egiyise yatwalibwa mu ggulu eryokusatu. Naye oba yatwalibwa ng’ali mu mubiri, oba nga tali mu mubiri, nange simanyi, wabula Katonda ye amanyi.

Read full chapter