Add parallel Print Page Options

46 (A)Amaanyi ga Mukama ne gakka ku Eriya ne yeesiba ekimyu, n’adduka ng’akulembedde Akabu okutuuka e Yezuleeri.

Read full chapter

(A)Awo Eriya n’addira omunagiro gwe n’aguzinga wamu n’akuba amazzi ne gaawulibwamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo n’amalala ku luuyi olwa kkono, bombi ne bayita ku lukalu.

Read full chapter

14 (A)N’addira omunagiro gwe yali alonze n’aguzinga n’akuba amazzi n’ayogera nti, “Kaakano Mukama, Katonda wa Eriya ali luuyi wa?” Bwe yakuba amazzi ne geeyawulamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo n’amalala ku luuyi olwa kkono, n’asomoka.

Read full chapter

(A)Nnabbi Erisa n’ayita omu ku bannabbi abato n’amugamba nti, “Weesibe ekimyu, otwale eccupa eno ey’amafuta, ogende nayo e Lamosugireyaadi.

Read full chapter

(A)Awo Mukama n’amubuuza nti, “Ekyo kiki ekiri mu ngalo zo?”

N’addamu nti, “Muggo.”

Read full chapter

19 (A)Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti, ‘Twala omuggo gwo ogwolekeze amazzi gonna mu Misiri: ku migga gyabwe, n’emikutu gyabwe, n’obuyanja bwabwe, n’ebidiba byabwe, byonna bifuuke musaayi. Era wagenda kubeerawo omusaayi mu nsi yonna ey’e Misiri: mu ntiba ez’emiti ne mu matogero ag’amayinja.’ ”

Read full chapter

16 (A)Wanika omuggo gwo, ogolole n’omukono gwo ku nnyanja, amazzi ogaawulemu, abaana ba Isirayiri bayite wakati mu nnyanja kyokka nga batambulira ku ttaka kkalu.

Read full chapter