Add parallel Print Page Options

Eriya Addukira e Kolebu

19 (A)Awo Akabu n’abuulira Yezeberi byonna Eriya bye yakola, ne bwe yatta bannabbi bonna n’ekitala. (B)Yezeberi n’atumira Eriya omubaka okumugamba nti, “Bakatonda bankole bwe batyo n’okukirawo, bwe siifuule obulamu bwo okuba ng’obulamu bw’omu ku bo, essaawa nga zino enkya.”

(C)Eriya n’atya nnyo, n’adduka okuwonya obulamu bwe. Bwe yatuuka e Beeruseba mu Yuda, n’aleka eyo omuweereza we. (D)Naye ye n’atambula olugendo lwa lunaku lumu mu ddungu, n’atuuka awali omwoloola, n’atuula wansi waagwo, n’asaba afe. N’ayogera nti, “Kino kimala, Mukama, kaakano twala obulamu bwange, kubanga sisinga bajjajjange.” (E)N’agalamira wansi w’omwoloola ne yeebaka.

Amangwago malayika n’amukomako, n’amugamba nti, “Golokoka olye.” N’agolokoka, laba ng’emitwetwe we waliwo akasumbi k’amazzi n’omugaati omwokye. N’alya n’anywa, n’addamu n’agalamira.

Malayika wa Mukama n’akomawo omulundi ogwokubiri n’amukomako n’amugamba nti, “Golokoka olye, kubanga olugendo lunene.” (F)Awo n’agolokoka n’alya, n’anywa, n’afuna amaanyi, era n’atambula olugendo lwa nnaku amakumi ana emisana n’ekiro, okutuuka e Kolebu, olusozi lwa Katonda.

Mukama Alabikira Eriya

(G)Bwe yatuuka eyo, n’ayingira mu mpuku, n’asula omwo. Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kigamba nti, “Okola ki wano, Eriya?” 10 (H)N’addamu nti, “Nyiikidde nnyo okuweereza Mukama Katonda ow’Eggye ne nkwatibwa n’obuggya ku lulwe. Abayisirayiri balese endagaano yo, bamenye ebyoto byo, era ne batta ne bannabbi bo n’ekitala. Nze nsigaddewo nzekka, ne kaakano bannoonya okunzita.”

11 (I)Mukama n’amugamba nti, “Ffuluma, oyimirire ku lusozi mu maaso ga Mukama, kubanga Mukama ali kumpi kuyitawo.”

Kale laba, embuyaga nnyingi ey’amaanyi n’emenya ensozi n’eyasa n’enjazi mu maaso ga Eriya, naye Mukama nga taliimu. Oluvannyuma lw’embuyaga, musisi ow’amaanyi n’ayita naye era Mukama nga taliimu. 12 (J)Oluvannyuma lwa musisi ne wajja omuliro, naye era Mukama teyaliimu mu muliro. Oluvannyuma lw’omuliro, ne wajja eddoboozi ttono nga lya ggonjebwa. 13 (K)Eriya bwe yaliwulira, n’abikka[a] amaaso ge n’omunagiro gwe n’afuluma n’ayimirira ku mulyango gw’empuku.

Awo Mukama n’amugamba nti, “Okola ki wano Eriya?”

14 (L)N’addamu nti, “Nyiikidde nnyo okuweereza Mukama Katonda ow’Eggye, naye Abayisirayiri balese endagaano yo, bamenyeemenye ebyoto byo, era ne batta ne bannabbi bo n’ekitala. Nze nsigaddewo nzeka, ne kaakano bannoonya okunzita.”

15 (M)Mukama n’amugamba nti, “Ddirayo mu kkubo lye wajjiddemu ogende mu ddungu lya Ddamasiko. Bw’onootuuka eyo ofuke amafuta ku Kazayeeri okuba kabaka w’e Busuuli, 16 (N)ne ku Yeeku mutabani wa Nimusi okuba kabaka wa Isirayiri, ate era ofuke n’amafuta ku Erisa mutabani wa Safati ow’e Aberumekola okudda mu kifo kyo. 17 (O)Era Yeeku anatta oyo yenna anadduka okuwona ekitala kya Kazayeeri, ate Erisa ye n’atta oyo yenna anadduka okuwona ekitala kya Yeeku. 18 (P)Wabula nesigaliza akasanvu mu Isirayiri, abatavuunamiranga Baali wadde okumunywegera.”

Okuyitibwa kwa Erisa

19 (Q)Awo Eriya n’ava eyo n’asisinkana Erisa mutabani wa Safati ng’alima n’emigogo gy’ente kkumi n’ebiri, ye ng’alimisa ogw’ekkumi n’ebiri. Eriya n’agenda gy’ali n’amusuulako omunagiro gwe. 20 (R)Erisa n’aleka ente ze, n’adduka ng’agoberera Eriya. N’amugamba nti, “Ka nsibule kitange ne mmange, ndyoke ŋŋende naawe.”

Eriya n’amugamba nti, “Ddayo, nkukoze ki?”

21 (S)Awo Erisa n’amulekako akabanga, n’addayo, n’agenda n’asala omugogo gw’ente, ennyama n’agifumbisa ebiti by’enkumbi, n’agabira abantu ne balya. Awo n’agolokoka n’agoberera Eriya era n’amuweerezanga.

Footnotes

  1. 19:13 Eriya yabikka amaaso ge kubanga tewaali muntu eyatunuuliranga Katonda n’aba mulamu.

Elijah Flees to Horeb

19 Now Ahab told Jezebel(A) everything Elijah had done and how he had killed(B) all the prophets with the sword. So Jezebel sent a messenger to Elijah to say, “May the gods deal with me, be it ever so severely,(C) if by this time tomorrow I do not make your life like that of one of them.”(D)

Elijah was afraid[a] and ran(E) for his life.(F) When he came to Beersheba(G) in Judah, he left his servant there, while he himself went a day’s journey into the wilderness. He came to a broom bush,(H) sat down under it and prayed that he might die. “I have had enough, Lord,” he said. “Take my life;(I) I am no better than my ancestors.” Then he lay down under the bush and fell asleep.(J)

All at once an angel(K) touched him and said, “Get up and eat.” He looked around, and there by his head was some bread baked over hot coals, and a jar of water. He ate and drank and then lay down again.

The angel of the Lord came back a second time and touched him and said, “Get up and eat, for the journey is too much for you.” So he got up and ate and drank. Strengthened by that food, he traveled forty(L) days and forty nights until he reached Horeb,(M) the mountain of God. There he went into a cave(N) and spent the night.

The Lord Appears to Elijah

And the word of the Lord came to him: “What are you doing here, Elijah?”(O)

10 He replied, “I have been very zealous(P) for the Lord God Almighty. The Israelites have rejected your covenant,(Q) torn down your altars,(R) and put your prophets to death with the sword. I am the only one left,(S) and now they are trying to kill me too.”

11 The Lord said, “Go out and stand on the mountain(T) in the presence of the Lord, for the Lord is about to pass by.”(U)

Then a great and powerful wind(V) tore the mountains apart and shattered(W) the rocks before the Lord, but the Lord was not in the wind. After the wind there was an earthquake, but the Lord was not in the earthquake. 12 After the earthquake came a fire,(X) but the Lord was not in the fire. And after the fire came a gentle whisper.(Y) 13 When Elijah heard it, he pulled his cloak over his face(Z) and went out and stood at the mouth of the cave.

Then a voice said to him, “What are you doing here, Elijah?”

14 He replied, “I have been very zealous for the Lord God Almighty. The Israelites have rejected your covenant, torn down your altars, and put your prophets to death with the sword. I am the only one left,(AA) and now they are trying to kill me too.”

15 The Lord said to him, “Go back the way you came, and go to the Desert of Damascus. When you get there, anoint Hazael(AB) king over Aram. 16 Also, anoint(AC) Jehu son of Nimshi king over Israel, and anoint Elisha(AD) son of Shaphat from Abel Meholah(AE) to succeed you as prophet. 17 Jehu will put to death any who escape the sword of Hazael,(AF) and Elisha will put to death any who escape the sword of Jehu.(AG) 18 Yet I reserve(AH) seven thousand in Israel—all whose knees have not bowed down to Baal and whose mouths have not kissed(AI) him.”

The Call of Elisha

19 So Elijah went from there and found Elisha son of Shaphat. He was plowing with twelve yoke of oxen, and he himself was driving the twelfth pair. Elijah went up to him and threw his cloak(AJ) around him. 20 Elisha then left his oxen and ran after Elijah. “Let me kiss my father and mother goodbye,”(AK) he said, “and then I will come with you.”

“Go back,” Elijah replied. “What have I done to you?”

21 So Elisha left him and went back. He took his yoke of oxen(AL) and slaughtered them. He burned the plowing equipment to cook the meat and gave it to the people, and they ate. Then he set out to follow Elijah and became his servant.(AM)

Footnotes

  1. 1 Kings 19:3 Or Elijah saw