Add parallel Print Page Options

Mu bbaluwa ezo n’awandiika nti,

“Mulangirire okusiiba, mutuuze Nabosi mu kifo abantu bonna we bamulengerera, 10 (A)era mutuuze abasajja babiri okumwolekera bamuwaayirize nti akolimidde Katonda ne kabaka. Oluvannyuma mumutwale ebweru mumukube amayinja, mumutte.”

11 Awo abakadde n’abakungu abaabeeranga mu kibuga ekyo ne bakola nga Yezeberi bwe yalagira mu mabaluwa ge yabawandiikira. 12 (B)Ne balangirira okusiiba era ne batuuza Nabosi mu kifo w’alabikira obulungi mu bantu. 13 (C)Abasajja babiri ne bajja ne batuula okumwolekera ne bamuwaayiriza mu maaso g’abantu nga bagamba nti, “Nabosi yakolimidde Katonda ne kabaka.” Awo abantu ne bamutwala ebweru w’ekibuga ne bamukuba amayinja ne bamutta.

Read full chapter

(A)Naye enkwe zaabwe ze bakola tezibayamba,
    ziri ng’engoye enkole mu wuzi za nnabbubi!
Tebasobola kuzeebikka.
    Emirimu gyabwe mirimu gya kwonoona, n’ebikolwa byabwe bulabe.

Read full chapter

(A)Naye obutali butuukirivu bwammwe
    bwe bubaawudde ku Katonda wammwe.
Ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso ge,
    n’atawulira.

Read full chapter