1 Bassekabaka 3:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Sulemaani Asaba Amagezi
3 (A)Awo Sulemaani n’akola endagaano ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri era n’awasa muwala we. N’amuleeta mu kibuga kya Dawudi okutuusa lwe yamala okuzimba ennyumba ye n’ennyumba ya Mukama, era ne bbugwe okwetooloola Yerusaalemi.
Read full chapter
2 Ebyomumirembe 33:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Oluvannyuma lw’ebyo n’addaabiriza bbugwe ow’ebweru ow’ekibuga kya Dawudi, ku luuyi olw’ebugwanjuba olwa Gikoni, mu kiwonvu, okutuuka awayingirirwa mu Mulyango ogw’Ebyennyanja, n’okwetooloola olusozi lwa Oferi, n’okumuzimba n’amuzimba ng’asingako bbugwe eyaliwo obuwanvu. N’ateeka n’abaduumizi b’eggye mu bibuga byonna ebiriko bbugwe mu Yuda.
Read full chapter
2 Ebyomumirembe 36:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Ne bookya yeekaalu ya Katonda ne bamenyaamenya ne bbugwe wa Yerusaalemi, ne bookya n’embiri zonna, ne bazikiriza n’ebintu eby’omuwendo byonna.
Read full chapter
Yeremiya 39:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 Ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi ogwokuna ogw’omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi kwa Zeddekiya, ekisenge ky’ekibuga kyabotolwa.
Read full chapter
Nekkemiya 8:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Awo abantu ne bagenda ne bagaleeta ne beezimbira weema, abamu ku busolya bwabwe, ne mu mpya zaabwe, ne mu luggya lw’ennyumba ya Katonda, ne mu kibangirizi okuliraana Omulyango gw’Amazzi, ne mu kibangirizi okuliraana Omulyango gwa Efulayimu.
Read full chapter
Nekkemiya 12:39
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
39 (A)ne ku Mulyango gwa Efulayimu, ne ku Mulyango gwa Yesana, ne ku Mulyango gw’Ebyennyanja, n’okutuuka ku Munaala gwa Kananeri, ne ku Munaala gw’Ekikumi, n’okutuukira ddala ku Mulyango gw’Endiga, ne tuyimirira ku Mulyango gw’Abambowa.
Read full chapter
2 Ebyomumirembe 25:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yowaasi, muzzukulu wa Yekoyakaazi e Besusemesi, n’amuleeta e Yerusaalemi. Yowaasi n’amenyaamenya n’ekitundu ekya bbugwe wa Yerusaalemi okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku Mulyango ogw’oku Nsonda, eyali mita kikumi mu kinaana obuwanvu.
Read full chapter
Yeremiya 31:38
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
38 (A)“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “ekibuga lwe kinaazimbibwa okuva ku Munaala gwe Kananeri okutuuka ku Mulyango gw’oku Nsonda.
Read full chapter
Zekkaliya 14:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Ensi yonna okuva e Geba okutuuka e Limmoni ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa Yerusaalemi; erifuuka nga Alaba naye Yerusaalemi kiriyimusibwa ne kisigala mu kifo kyakyo okuva ku mulongooti gwe Kananeri okutuuka ku masogolero ga kabaka.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.