Add parallel Print Page Options

15 (A)Kiramu n’akola empagi bbiri ez’ekikomo, buli emu obuwanvu mita munaana n’akatundu kamu, n’okwetooloola buli emu mita ttaano n’obutundu buna. 16 (B)Waggulu wa buli mpagi n’assaako ebitikkiro ebyalina ebitimba eby’omulimu ogw’ekikomo, n’emigo egy’omulimu ogw’emikuufu egyalukibwa. 17 N’akola empagi zombi n’ebitikkiro byakwo nga zitimbiddwa buli emu ng’erina ebiruke ng’amalanga ag’amakomamawanga, musanvu. 18 Ebitikkiro ebyali ku mpagi ez’olubalaza zakolebwa ng’amalanga ag’ebimuli eby’amakomamawanga. 19 Ebitikkiro eby’empagi byali ng’amalanga nga ziri mita emu n’obutundu munaana obugulumivu. 20 (C)Ku buli nkufiira ey’empagi kwaliko ekifaanana ng’ebakuli okuliraana n’omulimu ogufaanana ng’ekintu ekiruke, era waaliwo amakomamawanga ebikumi bibiri mu mbu okwetooloola ebitikkiro ebyo. 21 (D)N’akola empagi bbiri ku lubalaza lwa yeekaalu, emu n’agizimba ku luuyi olw’obukiikaddyo n’agituuma Yakini, n’eyokubiri n’agizimba ku luuyi olw’obukiikakkono n’agituuma Bowaazi. 22 Ebitikkiro byabyo byakolebwako ebimuli eby’amalanga, era bwe gutyo omulimu ogw’okuzimba empagi ne guggwa.

Read full chapter