1 Bassekabaka 7:48-51
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
48 (A)Awo Sulemaani n’akozesa n’ebintu ebirala byonna ebyateekebwa mu yeekaalu ya Mukama:
ekyoto ekya zaabu;
emmeeza eya zaabu okwaberanga emigaati egy’okulaga;
49 (B)ebikondo by’ettaala[a] ebya zaabu ennongoose, bitaano ku luuyi olwa ddyo n’ebitaano ku luuyi olwa kkono, byonna awamu kkumi, mu kifo awaayimirirwanga okwogera;
obusumbi bw’ebimuli; ettabaaza ne makansi nga bya zaabu;
50 (C)bbensani, ne makansi ezisala ebisirinza, ne bbakuli ezifukirira, n’ebibya ne fulampeni, nga bya zaabu ennongoose;
eminyolo gy’enzigi egy’ekisenge eky’omunda ddala, kye Kifo Ekitukuvu Ennyo nga gya zaabu, n’egy’enzigi ez’ekisenge ekinene ddala ekya yeekaalu nga gya zaabu.
51 (D)Omulimu gwonna Kabaka Sulemaani gwe yakola ku yeekaalu ya Mukama bwe gwaggwa, n’aleeta ebintu Dawudi kitaawe bye yayawulirako Mukama, effeeza ne zaabu n’ebintu ebirala byonna, n’abiteeka mu mawanika ga yeekaalu ya Mukama.
Read full chapterFootnotes
- 7:49 Mu Weema ya Mukama mwalimu ekikondo ky’ettaala kimu kyokka nga kirina amatabi musanvu, (Kuv 25:31-40; 26:35). Mu kifo kyayo, Sulemaani yassaawo ebikondo kkumi eby’ettaala
2 Ebyomumirembe 24:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 Awo bwe baamaliriza, ensimbi ezafikkawo ne bazikomyawo ewa kabaka ne Yekoyaada, ate ezo ne zikozesebwa okukola ebintu eby’omu yeekaalu ya Mukama, eby’obuweereza n’eby’ebiweebwayo ebyokebwa, ne bbakuli ez’obubaane, n’ebibya ebya zaabu ne ffeeza. Era ne baweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa mu yeekaalu ya Mukama ennaku zonna eza Yekoyaada.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.