Add parallel Print Page Options

(A)Bonna ne bakuŋŋaanira ewa Kabaka Sulemaani ku mbaga mu mwezi ogwa Esanimu[a] gwe mwezi ogw’omusanvu.

Read full chapter

Footnotes

  1. 8:2 Esanimu Omwezi gwa Esanimu ly’ebbanga wakati wa Sebutemba ne Okitobba.

34 (A)“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano Embaga ya Mukama ey’Ensiisira kw’eneetandikiranga, era eneemalanga ennaku musanvu.

Read full chapter

(A)eve e Koola erage w’oyingirira Kamasi. Ensalo olwo eriraga e Zedada,

Read full chapter

(A)n’ensi y’Abagebali,

ne Lebanooni yonna, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’okuva ku Baalugadi wansi w’olusozi Kerumooni okutuuka w’oyingirira e Kamasi.

Read full chapter

(A)Ge gano: Abakungu abataano ab’Abafirisuuti, Abakanani bonna, Abasidoni, n’Abakiivi abaabeeranga ku lusozi Lebanooni, okuva ku lusozi Baalukerumoni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi.

Read full chapter

25 (A)Yatuukiriza ekigambo kya Mukama, Katonda wa Isirayiri kye yayogerera mu muddu we Yona mutabani wa Amitayi nnabbi ow’e Gasukeferi, n’azzaawo ensalo ya Isirayiri okuva ku mulyango gwa Kamasi okutuuka ku Nnyanja ey’Omunnyo.

Read full chapter

18 (A)Ku lunaku olwo Mukama n’akola endagaano ne Ibulaamu ng’agamba nti, “Ezadde lyo ndiwa ensi eno, okuva ku mugga ogw’e Misiri okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati:

Read full chapter