Add parallel Print Page Options

42 (A)kubanga abantu baliwulira erinnya lyo ekkulu n’omukono gwo ogw’amaanyi, bw’anajjanga n’asaba ng’atunuulidde yeekaalu eno; 43 (B)owulirenga ng’oli mu ggulu, ekifo gy’obeera, era okolenga buli kintu kyonna omunaggwanga oyo ky’anaakusabanga, abantu bonna ab’omu nsi bamanye erinnya lyo era bakutyenga, ng’abantu bo Isirayiri bwe bakola, era bamanyenga nti Ennyumba eno gye nzimbye, etuumiddwa erinnya lyo.

Read full chapter

19 (A)Kaakano, Ayi Mukama, Katonda waffe, tukwegayiridde, otulokole mu mukono gwe, amawanga gonna ku nsi gamanye nga ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wekka.”

Read full chapter

(A)Naye Mukama n’abalokola, olw’erinnya lye,
    alyoke amanyise amaanyi g’obuyinza bwe obungi.

Read full chapter

(A)Ani ataakutye,
    Ayi Kabaka w’amawanga?
    Kubanga kino kye kikugwanira.
Kubanga mu bagezigezi bonna bannaggwanga
    ne mu bwakabaka bwabwe bwonna
    tewali ali nga ggwe.

Read full chapter

16     (A)Okwesisiwala n’entiisa biribajjira.
Olw’omukono gwo ogw’amaanyi tebalinyega,
    balisirika ng’ejjinja okutuusa abantu bo lwe baliyitawo, Ayi Mukama,
okutuusa abantu bo, be wanunula,
    lwe baliyitawo.

Read full chapter

12 (A)Obugagga n’ekitiibwa biva gy’oli,
    era ggwe ofuga ebintu byonna;
omukono gwo gwa maanyi era gwa buyinza
    era gugulumiza ne guwa amaanyi bonna.

Read full chapter

13 Oli wa buyinza bungi nnyo; omukono gwo gwa maanyi,
    omukono gwo ogwa ddyo gunaagulumizibwanga.

Read full chapter

31 (A)Abayisirayiri ne balaba obuyinza obunene ennyo Mukama bwe yalaga ng’akola ku Bamisiri: abantu ne batya Mukama, ne bakkiriza Mukama n’omuweereza we Musa.

Read full chapter