Add parallel Print Page Options

(A)Bakabona n’Abaleevi ne babisitula, Kabaka Sulemaani n’abo abaali awamu naye, n’eggwanga lyonna erya Isirayiri eryali liri naye mu maaso g’essanduuko, ne bawaayo ebiweebwayo ebya ssaddaaka eby’endiga, n’ente, ebitaamanyibwa muwendo.

Read full chapter

34 (A)Wabula bakabona ne baba batono ne batayinza kubaaga biweebwayo ebyokebwa byonna, baganda baabwe Abaleevi ne babayambako okutuusa bakabona abalala bwe beetukuza; omulimu ne guggwa, kubanga Abaleevi baali beegendereza nnyo mu kwetukuza okusinga bakabona.

Read full chapter

(A)Yosiya n’agabira abantu abaabulijjo bonna abaaliwo endiga n’embuzi emitwalo esatu okuba ebiweebwayo olw’Embaga ey’Okuyitako, n’ente enkumi ssatu okuva mu byobugagga bwe.

Read full chapter

17 (A)Olw’okutukuza ennyumba eyo eya Katonda, baawaayo ente ennume kikumi, n’endiga ennume ebikumi bibiri, n’endiga ennume ento ebikumi bina, ate n’ekiweebwayo olw’ekibi ku lwa Isirayiri yenna, embuzi ennume kkumi na bbiri, ng’omuwendo bwe gwali ogw’ebika bya Isirayiri.

Read full chapter

35 (A)Mu kiseera ekyo abaawaŋŋangusibwa, abakomawo okuva mu busibe, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda wa Isirayiri: ente ennume kkumi na bbiri ku lwa Isirayiri yenna, n’endiga ennume kyenda mu mukaaga, n’obuliga obuto nga bulume nsanvu mu musanvu, n’embuzi ennume kkumi na bbiri okuba ekiweebwayo olw’ekibi, ebyo byonna ne biba ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama.

Read full chapter