Add parallel Print Page Options

Sawulo Yetta

10 Awo Abafirisuuti ne balumba Isirayiri, abasajja Abayisirayiri ne babadduka era bangi ku bo ne battibwa ku Lusozi Girubowa. Abafirisuuti ne bagobera ddala Sawulo ne batabani be, era batabani be Yonasaani, ne Abinadaabu ne Malukisiwa ne battibwa. Olutalo ne lweyongerera ddala ne Sawulo ne yeeraliikirira nnyo, anti n’abalasi nga bamutuseeko era baamulasa n’alumizibwa.

Awo Sawulo n’agamba eyamusituliranga ebyokulwanyisa bye nti, “Sowola ekitala kyo, onfumite, ng’abasajja abo abatali bakomole tebannajja ku nswaza.” Naye eyamusituliranga ebyokulwanyisa bye n’atya nnyo, era n’agaana. Sawulo kyeyava asowolayo ekitala kye n’akigwako. Awo eyamusituliranga ebyokulwanyisa bwe yalaba nga Sawulo afudde, naye n’asowolayo ekikye ne yetta. Sawulo n’afa bw’atyo ne batabani be bonsatule, era n’abo mu nnyumba ye bonna ne bafa.

Awo Abayisirayiri bonna abaali mu kiwonvu, bwe baalaba ng’eggye lyabwe lidduse, nga ne Sawulo ne batabani be bafudde, ne baleka ebibuga byabwe ne badduka, Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu. Enkeera, Abafirisuuti bwe bajja okwambula abafudde, ne basanga Sawulo ne batabani be nga bafiiridde ku Lusozi Girubowa. Ne bamwambula, ne bamuggyako ebyokulwanyisa bye, ne bamutemako omutwe, era ne batuma n’ababaka okuddayo mu nsi y’Abafirisuuti okubategeeza amawulire ago. 10 (A)Ne bateeka ebyokulwanyisa bya Sawulo mu ssabo lya bakatonda baabwe, ate n’omutwe gwe ne guwanikibwa mu ssabo lya Dagoni.

11 (B)Awo ab’e Yabesugireyaadi bonna bwe baawulira byonna Abafirisuuti bye baakola Sawulo, 12 abasajja abazira mu bo ne bagenda ne baggyayo omulambo gwa Sawulo n’eggya batabani be, ne bagireeta e Yabesi. Ne baziika amagumba gaabwe wansi w’omwera e Yabesi, era ne basiibira ennaku musanvu.

13 (C)Bw’atyo Sawulo n’afa olw’obutaba mwesigwa eri Mukama, n’obutakwata kigambo kya Mukama, ate n’okulagulwa omusamize n’amwebuuzaako, 14 (D)mu kifo ky’okwebuuza ku Mukama. Mukama kyeyava atta Sawulo n’obwakabaka n’abuwa Dawudi mutabani wa Yese.

Saul Takes His Life(A)

10 Now the Philistines fought against Israel; the Israelites fled before them, and many fell dead on Mount Gilboa. The Philistines were in hot pursuit of Saul and his sons, and they killed his sons Jonathan, Abinadab and Malki-Shua. The fighting grew fierce around Saul, and when the archers overtook him, they wounded him.

Saul said to his armor-bearer, “Draw your sword and run me through, or these uncircumcised fellows will come and abuse me.”

But his armor-bearer was terrified and would not do it; so Saul took his own sword and fell on it. When the armor-bearer saw that Saul was dead, he too fell on his sword and died. So Saul and his three sons died, and all his house died together.

When all the Israelites in the valley saw that the army had fled and that Saul and his sons had died, they abandoned their towns and fled. And the Philistines came and occupied them.

The next day, when the Philistines came to strip the dead, they found Saul and his sons fallen on Mount Gilboa. They stripped him and took his head and his armor, and sent messengers throughout the land of the Philistines to proclaim the news among their idols and their people. 10 They put his armor in the temple of their gods and hung up his head in the temple of Dagon.(B)

11 When all the inhabitants of Jabesh Gilead(C) heard what the Philistines had done to Saul, 12 all their valiant men went and took the bodies of Saul and his sons and brought them to Jabesh. Then they buried their bones under the great tree in Jabesh, and they fasted seven days.

13 Saul died(D) because he was unfaithful(E) to the Lord; he did not keep(F) the word of the Lord and even consulted a medium(G) for guidance, 14 and did not inquire of the Lord. So the Lord put him to death and turned(H) the kingdom(I) over to David son of Jesse.