Add parallel Print Page Options

11 (A)Awo Dawudi n’ayambuka ne basajja be e Baaluperazimu, n’atabaala Abafirisuuti n’abawangula. N’ayogera nti, “Katonda awangudde abalabe bange n’omukono gwe, ng’amazzi bwe gawaguza.” Era ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Baaluperazimu.

Read full chapter

11 So David and his men went up to Baal Perazim,(A) and there he defeated them. He said, “As waters break out, God has broken out against my enemies by my hand.” So that place was called Baal Perazim.[a]

Read full chapter

Footnotes

  1. 1 Chronicles 14:11 Baal Perazim means the lord who breaks out.

10 (A)Mukama n’abaleetera okutya mu maaso g’Abayisirayiri ne babatta olutta lunene nnyo e Gibyoni ne babafubutula okubambusa e Besukolooni, ne bagenda nga babatta okuyitira ddala e Azeka okutuuka e Makkeda.

Read full chapter

10 The Lord threw them into confusion(A) before Israel,(B) so Joshua and the Israelites defeated them completely at Gibeon.(C) Israel pursued them along the road going up to Beth Horon(D) and cut them down all the way to Azekah(E) and Makkedah.(F)

Read full chapter

Enjuba Esikattira

12 (A)Yoswa n’agamba Mukama ku lunaku olwo Abayisirayiri lwe battirako Abamoli, nga n’Abayisirayiri bonna bawulira nti,

“Ggwe enjuba, yimirira butengerera waggulu wa Gibyoni,
    naawe omwezi kola bw’otyo waggulu w’ekiwonvu Ayalooni.”

Read full chapter

12 On the day the Lord gave the Amorites(A) over to Israel, Joshua said to the Lord in the presence of Israel:

“Sun, stand still over Gibeon,
    and you, moon, over the Valley of Aijalon.(B)

Read full chapter

16 (A)Dawudi n’akola nga Mukama bwe yamulagira, ne bazikiriza eggye ly’Abafirisuuti, okuva e Gibyoni okutuuka e Gezeri.

Read full chapter

16 So David did as God commanded him, and they struck down the Philistine army, all the way from Gibeon(A) to Gezer.(B)

Read full chapter

12 (A)Mukama bw’alimaliriza omulimu gwe ku lusozi Sayuuni era ne ku Yerusaalemi n’alyoka abonereza kabaka w’e Bwasuli olw’okwewaana n’okuduula kwe n’entunula ye ey’amalala.

Read full chapter

12 When the Lord has finished all his work(A) against Mount Zion(B) and Jerusalem, he will say, “I will punish the king of Assyria(C) for the willful pride(D) of his heart and the haughty look(E) in his eyes.

Read full chapter

Yesu Akaabira Yerusaalemi

41 (A)Awo Yesu bwe yali ng’asemberera ekibuga Yerusaalemi, bwe yakirengera, n’akikaabira. 42 N’agamba nti, “Singa otegedde leero ebireeta emirembe ebyakulagirwa! Naye kaakano bikukwekeddwa, amaaso go tegayinza kubiraba. 43 (B)Ekiseera kigenda kutuuka abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo okukwetooloola ne bakuzinda, 44 (C)ne bakumerengulira ku ttaka munda mu bisenge byo ggwe n’abaana bo. Abalabe bo tebalirekawo jjinja na limu nga litudde ku linnaalyo, kubanga omukisa Katonda gwe yakuwa ogw’okulokolebwa wagaana okugukozesa.”

Read full chapter

41 As he approached Jerusalem and saw the city, he wept over it(A) 42 and said, “If you, even you, had only known on this day what would bring you peace—but now it is hidden from your eyes. 43 The days will come upon you when your enemies will build an embankment against you and encircle you and hem you in on every side.(B) 44 They will dash you to the ground, you and the children within your walls.(C) They will not leave one stone on another,(D) because you did not recognize the time of God’s coming(E) to you.”

Read full chapter