1 Ebyomumirembe 16:34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
34 (A)Weebaze Mukama kubanga mulungi;
era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Zabbuli 25:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Mukama mulungi, era wa mazima,
noolwekyo ayigiriza aboonoonyi ekkubo lye.
Ezera 3:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Ne bayimba ennyimba ez’okwebaza n’okutendereza Mukama nga boogera nti,
“Mulungi,
n’okwagala kwe eri Isirayiri kubeerera emirembe gyonna.”
Abantu bonna ne bayimusa amaloboozi gaabwe nga batendereza Mukama, kubanga omusingi gw’ennyumba ya Mukama gwali guzimbiddwa.
Read full chapter
Zabbuli 106:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
106 (A)Mumutendereze Mukama!
Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna.
Zabbuli 119:90
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
90 (A)Obwesigwa bwo tebuggwaawo emirembe gyonna;
watonda ensi era enyweredde ddala.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.