Add parallel Print Page Options

22 (A)Awo Dawudi n’ayogera nti, “Wano we wanaabeeranga ennyumba ya Mukama Katonda, n’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ku lwa Isirayiri.”

Enteekateeka ey’okuzimba Yeekaalu

(B)Dawudi n’alagira okukuŋŋaanya bannaggwanga abaali mu Isirayiri, era mu bo n’alondamu abatemi b’amayinja, bagabajje nga kuzimbisa nnyumba ya Mukama. (C)Yateekawo ebyuma bingi olw’okukola emisumaali egy’enzigi egya wankaaki, n’olwebigatta, n’ebikomo bingi ebyayinga obungi n’obuzito. (D)Yawaayo n’emivule egitabalika, Abazidoni n’Abatuulo gye baamuleetera.

(E)Dawudi n’ayogera nti, “Sulemaani mutabani wange akyali mwana muto n’obumanyirivu bwe butono. Ennyumba egenda okuzimbirwa Mukama egwana okuba ey’ekitiibwa ekinene ennyo, ng’eyatiikirira era ng’etenderezebwa mu mawanga gonna. Noolwekyo nzija kuteekateeka ebinaagizimba.” Era Dawudi yakola entegeka nnene ddala nga tannaba kufa.

(F)Awo n’ayita Sulemaani mutabani we n’amukuutira okuzimbira Mukama Katonda wa Isirayiri ennyumba. (G)Dawudi n’agamba Sulemaani nti, “Mwana wange, kyali mu mutima gwange okuzimba ennyumba ku lwa Mukama Katonda wange. (H)Naye ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, ‘Oyiye omusaayi mungi, era olwanye entalo nnyingi. Tolizimbira linnya lyange nnyumba, kubanga oyiye omusaayi mungi mu maaso gange. (I)Laba, omwana owoobulenzi alizaalibwa gy’oli, era aliba omusajja ow’emirembe, ne muwa emirembe eri abalabe bonna enjuuyi zonna. Aliyitibwa Sulemaani. Ndiwa Isirayiri emirembe n’obutebenkevu ku mulembe gwe. 10 (J)Oyo ye alizimba ennyumba ku lw’erinnya lyange. Aliba mutabani wange, nange ndiba kitaawe. Era ndinyweza entebe ye ey’obwakabaka bwe mu Isirayiri emirembe gyonna.’ 

11 (K)“Kaakano, mwana wange, Mukama abeere naawe, era olabe omukisa, ozimbire Mukama Katonda wo ennyumba, nga bwe yayogera. 12 (L)Mukama akuwe amagezi ag’okwawula n’okutegeera ng’okulembera Isirayiri, olyoke okuumenga amateeka ga Mukama Katonda wo. 13 (M)Olwo onoolaba omukisa bw’oneekuumanga ebiragiro n’amateeka Mukama ge yawa Musa ku lwa Isirayiri. Beera n’amaanyi era gguma omwoyo, totya so totekemuka.

14 (N)“Mu kutegana okungi ntegekedde yeekaalu ya Mukama ttani eza zaabu enkumi ssatu mu bina mu ataano, ne ttani eza ffeeza emitwalo esatu mu enkumi nnya mu bitaano; n’ebikomo n’ebyuma bingi nnyo ebitapimika muwendo gwabyo, n’embaawo n’amayinja. Ate okyayinza n’okwongerako. 15 Olina abakozi bangi; abatemi b’amayinja, n’abazimbi, n’ababazzi, n’abantu bonna abalina obumanyirivu mu kuweesa 16 (O)zaabu ne ffeeza, n’ebikomo, n’ekyuma. Kaakano tandikirawo okukola era Mukama akuluŋŋamye.”

17 (P)Awo Dawudi n’alagira abakulembeze bonna aba Isirayiri okuyamba mutabani we Sulemaani ng’agamba nti, 18 (Q)Mukama Katonda wammwe tali wamu nammwe? Era tabawadde okuwummula n’emirembe ku njuyi zonna? Agabudde ababeera mu nsi mu mukono gwange, era ensi ekkakkanye eri Mukama n’eri abantu be. 19 (R)Kaakano mumalirire mu mitima gyammwe ne mu mmeeme zammwe okunoonya Mukama Katonda wammwe. Mutandike okuzimba awatukuvu wa Mukama, n’oluvannyuma muleete essanduuko ey’endagaano ya Mukama, n’ebintu ebitukuvu ebya Katonda mu yeekaalu eneezimbibwa ku lw’erinnya lya Mukama.”

22 Then David said, “The house of the Lord God(A) is to be here, and also the altar of burnt offering for Israel.”

Preparations for the Temple

So David gave orders to assemble the foreigners(B) residing in Israel, and from among them he appointed stonecutters(C) to prepare dressed stone for building the house of God. He provided a large amount of iron to make nails for the doors of the gateways and for the fittings, and more bronze than could be weighed.(D) He also provided more cedar logs(E) than could be counted, for the Sidonians and Tyrians had brought large numbers of them to David.

David said, “My son Solomon is young(F) and inexperienced, and the house to be built for the Lord should be of great magnificence and fame and splendor(G) in the sight of all the nations. Therefore I will make preparations for it.” So David made extensive preparations before his death.

Then he called for his son Solomon and charged him to build(H) a house for the Lord, the God of Israel. David said to Solomon: “My son, I had it in my heart(I) to build(J) a house for the Name(K) of the Lord my God. But this word of the Lord came to me: ‘You have shed much blood and have fought many wars.(L) You are not to build a house for my Name,(M) because you have shed much blood on the earth in my sight. But you will have a son who will be a man of peace(N) and rest,(O) and I will give him rest from all his enemies on every side. His name will be Solomon,[a](P) and I will grant Israel peace and quiet(Q) during his reign. 10 He is the one who will build a house for my Name.(R) He will be my son,(S) and I will be his father. And I will establish(T) the throne of his kingdom over Israel forever.’(U)

11 “Now, my son, the Lord be with(V) you, and may you have success and build the house of the Lord your God, as he said you would. 12 May the Lord give you discretion and understanding(W) when he puts you in command over Israel, so that you may keep the law of the Lord your God. 13 Then you will have success(X) if you are careful to observe the decrees and laws(Y) that the Lord gave Moses for Israel. Be strong and courageous.(Z) Do not be afraid or discouraged.

14 “I have taken great pains to provide for the temple of the Lord a hundred thousand talents[b] of gold, a million talents[c] of silver, quantities of bronze and iron too great to be weighed, and wood and stone. And you may add to them.(AA) 15 You have many workers: stonecutters, masons and carpenters,(AB) as well as those skilled in every kind of work 16 in gold and silver, bronze and iron—craftsmen(AC) beyond number. Now begin the work, and the Lord be with you.”

17 Then David ordered(AD) all the leaders of Israel to help his son Solomon. 18 He said to them, “Is not the Lord your God with you? And has he not granted you rest(AE) on every side?(AF) For he has given the inhabitants of the land into my hands, and the land is subject to the Lord and to his people. 19 Now devote your heart and soul to seeking the Lord your God.(AG) Begin to build the sanctuary of the Lord God, so that you may bring the ark of the covenant of the Lord and the sacred articles belonging to God into the temple that will be built for the Name of the Lord.”

Footnotes

  1. 1 Chronicles 22:9 Solomon sounds like and may be derived from the Hebrew for peace.
  2. 1 Chronicles 22:14 That is, about 3,750 tons or about 3,400 metric tons
  3. 1 Chronicles 22:14 That is, about 37,500 tons or about 34,000 metric tons