Add parallel Print Page Options

24 (A)Sebweri muzzukulu wa Gerusomu, mutabani wa Musa, ye yali omuwanika omukulu. 25 (B)Baganda be okuva ku Eryeza nga be ba Lekabiya, ne Yesaya, ne Yolaamu, ne Zikuli ne Seromosi, bonna nga batabani be.

26 (C)Seromosi ne baganda be, be baali abawanika b’ebintu byonna ebyawongebwa Dawudi kabaka, n’abakulu b’ennyumba, n’abaali abaduumizi b’olukumi, n’abaduumizi b’ekikumi, n’abaduumizi abalala. 27 Ebimu ku byanyagibwa mu ntalo babiwonga, ne babiwaayo okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama. 28 (D)Ne byonna ebyawongebwa Samwiri nnabbi, ne Sawulo mutabani wa Kiisi, ne Abuneeri mutabani wa Neeri, ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya byavunaanyizibwanga Seromisi n’ab’eŋŋanda ze.

Read full chapter