Add parallel Print Page Options

Enteekateeka ya Dawudi ku bikwata ku Yeekaalu

28 (A)Dawudi n’akuŋŋaanya abakungu bonna aba Isirayiri e Yerusaalemi ng’omwo mwe muli abakulu b’ebika, n’abakulu b’ebitongole abaaweerezanga kabaka, n’abaduumizi ab’olukumi, n’abaduumizi ab’ekikumi, n’abakungu abaavunaanyizibwanga eby’obugagga n’amagana ebyali ebya kabaka ne batabani be, n’abakungu ab’omu lubiri, n’abasajja ab’amaanyi era n’abasajja bonna abazira.

(B)Awo kabaka Dawudi n’ayimirira n’ayogera nti, “Mumpulirize baganda bange era abantu bange. Nnali nteseeteese mu mutima gwange okuzimbira essanduuko ey’endagaano ya Mukama n’entebe ey’ebigere bya Katonda, ennyumba, era nga nentegeka eyaayo ewedde okukolebwa. (C)Naye Katonda n’aŋŋamba nti, ‘Tolinzimbira linnya lyange nnyumba, kubanga oli mutabaazi wa ntalo era wayiwa omusaayi.’

(D)“Naye ate Mukama Katonda wa Isirayiri yannonda mu nnyumba ya kitange yonna okuba kabaka wa Isirayiri emirembe gyonna. Yalonda Yuda okuba omukulembeze, ne mu nnyumba ya Yuda n’alondamu ennyumba ya kitange, ne mu batabani ba kitange n’asiima okunfuula kabaka wa Isirayiri yenna. (E)Mu batabani bange bonna, kubanga Mukama ampadde bangi, Sulemaani mutabani wange gw’alonze okutuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Mukama mu Isirayiri. (F)Yaŋŋamba nti, ‘Sulemaani mutabani wo y’alizimba ennyumba yange n’empya zange, kubanga mmulonze okuba omwana wange, era nange n’abeeranga kitaawe.

Read full chapter

David’s Plans for the Temple

28 David summoned(A) all the officials(B) of Israel to assemble at Jerusalem: the officers over the tribes, the commanders of the divisions in the service of the king, the commanders of thousands and commanders of hundreds, and the officials in charge of all the property and livestock belonging to the king and his sons, together with the palace officials, the warriors and all the brave fighting men.

King David rose to his feet and said: “Listen to me, my fellow Israelites, my people. I had it in my heart(C) to build a house as a place of rest(D) for the ark of the covenant of the Lord, for the footstool(E) of our God, and I made plans to build it.(F) But God said to me,(G) ‘You are not to build a house for my Name,(H) because you are a warrior and have shed blood.’(I)

“Yet the Lord, the God of Israel, chose me(J) from my whole family(K) to be king over Israel forever. He chose Judah(L) as leader, and from the tribe of Judah he chose my family, and from my father’s sons he was pleased to make me king over all Israel.(M) Of all my sons—and the Lord has given me many(N)—he has chosen my son Solomon(O) to sit on the throne(P) of the kingdom of the Lord over Israel. He said to me: ‘Solomon your son is the one who will build(Q) my house and my courts, for I have chosen him to be my son,(R) and I will be his father.

Read full chapter