1 Ebyomumirembe 28:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Dawudi n’ayongera n’agamba Sulemaani mutabani we nti, “Ba n’amaanyi era guma omwoyo, okole omulimu. Totya so totekemuka wadde okuggwamu omwoyo, kubanga Mukama Katonda, Katonda wange ali wamu naawe. Taakwabulirenga so taakulekenga okutuusa omulimu gwonna ogw’okuweereza ogwa yeekaalu ye Mukama nga guwedde.
Read full chapter
Zekkaliya 8:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Emikono gyammwe gibe n’amaanyi, mmwe, mu nnaku zino ababadde bawulira ebigambo bino ebiva mu kamwa ka bannabbi abaaliwo mu nnaku okuva omusingi gw’ennyumba ya Mukama ow’Eggye lwe gwasimbibwa, yeekaalu ye eryoke ezimbibwe.
Read full chapter
Abaefeso 6:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ebyokulwanyisa bya Katonda
10 (A)Eky’enkomerero, mubenga n’amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge.
Read full chapter
2 Samwiri 5:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Dawudi ne yeeyongeranga okuba ow’amaanyi kubanga Mukama Katonda ow’Eggye yali wamu naye.
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 7:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)“Bajjajja abo ne bakwatirwa Yusufu obuggya, ne bamutunda mu Misiri. Naye Katonda yali naye,
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.