Add parallel Print Page Options

(A)Okwongera kw’ebyo byonna, n’okwewaayo kwange olwa yeekaalu ya Katonda wange, mpaddeyo amawanika gange aga zaabu ne ffeeza ku lwa yeekaalu ya Katonda wange;

Read full chapter

31 (A)Awo Keezeekiya n’ayogera nti, “Kaakano mwetukuzizza eri Mukama, musembere, muleete ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokwebaza mu yeekaalu ya Mukama.” Ekibiina ne kireeta ssaddaaka n’ebiweebwayo eby’okwebaza, n’abo bonna abeesiimira ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa.

32 Omuwendo gw’ebiweebwayo ebyokebwa ekibiina gwe kyaleeta gwali ente ennume nsanvu, n’endiga ennume kikumi, n’endiga ento nga nnume ebikumi bibiri, ng’ebyo byonna bye byali ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama. 33 N’ensolo ezatukuzibwa okuba ssaddaaka zaali ente ennume lukaaga, n’endiga enkumi ssatu. 34 (B)Wabula bakabona ne baba batono ne batayinza kubaaga biweebwayo ebyokebwa byonna, baganda baabwe Abaleevi ne babayambako okutuusa bakabona abalala bwe beetukuza; omulimu ne guggwa, kubanga Abaleevi baali beegendereza nnyo mu kwetukuza okusinga bakabona. 35 (C)Ebiweebwayo ebyokebwa bingi, wamu n’amasavu ag’ebiweebwayo olw’emirembe, n’ebiweebwayo ebyokunywa ebyawerekerezebwa ku biweebwayo ebyokebwa.

Okuweereza mu yeekaalu ya Mukama ne kuzzibwawo. 36 Awo Keezeekiya n’abantu bonna ne bajaguza olw’ekyo Katonda kye yali akoledde abantu be mu bbanga ettono ennyo.

Read full chapter

13 (A)Sallumu n’azaala Kirukiya,

ne Kirukiya n’azaala Azaliya;

Read full chapter