Add parallel Print Page Options

Ebika Ebyava mu buwaŋŋanguse mu Babulooni

(A)Eggwanga lyonna erya Isirayiri lyabalibwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali era ne bawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo bya bassekabaka ba Isirayiri. Olw’okukola ebibi mu maaso ga Mukama, abantu ba Yuda nabo baatwalibwa mu buwaŋŋanguse.

Read full chapter

Enteekateeka ya Dawudi ku bikwata ku Yeekaalu

28 (A)Dawudi n’akuŋŋaanya abakungu bonna aba Isirayiri e Yerusaalemi ng’omwo mwe muli abakulu b’ebika, n’abakulu b’ebitongole abaaweerezanga kabaka, n’abaduumizi ab’olukumi, n’abaduumizi ab’ekikumi, n’abakungu abaavunaanyizibwanga eby’obugagga n’amagana ebyali ebya kabaka ne batabani be, n’abakungu ab’omu lubiri, n’abasajja ab’amaanyi era n’abasajja bonna abazira.

Read full chapter