Add parallel Print Page Options

22 (A)Bonna awamu, abaalondebwa okuba abaggazi b’emiryango baali bibiri mu kkumi na babiri, era baali baawandiikibwa mu byalo byabwe ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali.

Dawudi ne nnabbi Samwiri be bayawula emirimu gy’abaggazi nga bwe gyali.

Read full chapter

Ebibinja eby’abaggazi

26 (A)Ebibinja by’abaggazi byali:

Mu Bakola,

waaliyo Meseremiya mutabani wa Kole, omu ku batabani ba Asafu.

Read full chapter

14 (A)N’alonda ebibinja ebya bakabona olw’obuweereza bwabwe, n’Abaleevi olw’emirimu gyabwe egy’okutenderezanga mu nnyumba, ng’ekiragiro kya Dawudi kitaawe kye yayogera ne mu kuyambangako bakabona mu mirimu egya buli lunaku. Ate era n’alonda n’abaggazi mu bibinja byabwe olw’emiryango egy’enjawulo kubanga bw’atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.

Read full chapter

14 Kole mutabani wa Imuna Omuleevi, omuggazi w’omulyango ogw’ebuvanjuba, ye yavunaanyizibwanga ebyo bye baawangayo eri Katonda ku bwabwe awatali kuwalirizibwa, ng’agabanyamu ebyatonebwanga eri Mukama, n’ebirabo ebyayawulibwanga.

Read full chapter

42 (A)Bano be baakuumanga[a] enzigi za yeekaalu:

bazzukulu ba Sallumu, bazzukulu ba Ateri, bazzukulu ba Talumoni, bazzukulu ba Akkubu, bazzukulu ba Katita, ne bazzukulu ba Sobayi kikumi mu amakumi asatu mu mwenda (139).

Read full chapter

Footnotes

  1. 2:42 Abaakuumanga baali Baleevi abaavunaanyizibwanga okukuuma omulyango gwa Yeekaalu.

45 (A)Abaakuumanga wankaaki baali:

bazzukulu ba Sallumu, bazzukulu ba Ateri, bazzukulu ba Talumoni, bazzukulu ba Akkubu, bazzukulu ba Katita, ne bazzukulu ba Sobayi nga bali kikumi mu amakumi asatu mu munaana (138).

Read full chapter