1 Samwiri 1:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Naye Kaana n’amuddamu nti, “Si bwe kiri mukama wange; nze ndi mukazi ajjudde ennaku. Sinnanywa ku wayini newaakubadde ekitamiiza ekirala; mbadde nkaabira Mukama Katonda mu mmeeme yange.
Read full chapter
Zabbuli 42:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange
nga bwe nagendanga n’ekibiina ekinene,
ne nkulembera ennyiriri z’abantu empanvu,
nga tugenda mu nnyumba ya Katonda,
nga tuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka
n’okwebaza mu kibiina ekijaguza.
Okukungubaga 2:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Golokoka, okaabe ekiro
obudde nga bwa kaziba;
Fuka emmeeme yo ng’amazzi
mu maaso ga Mukama.
Yimusa emikono gyo gy’ali,
olw’obulamu bw’abaana bo abato
abazirise olw’enjala
mu buli luguudo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.