Add parallel Print Page Options

(A)“Bw’onoova eyo ogenda ku Lusozi lwa Katonda oluliko ekigo eky’Abafirisuuti. Bw’onooba onootera okutuuka ku kibuga, onoosisinkana ekibiina kya bannabbi nga baserengeta okuva mu kifo ekigulumivu nga bakulembeddwamu abakuba entongooli, n’ebitaasa, n’endere, n’ennanga, era nga bawa obunnabbi.

Read full chapter

(A)Ekibiina ekya bannabbi abaali e Beseri ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Mukama anaatwala mukama wo olwa leero?”

Erisa n’abaddamu nti, “Nkimanyi, naye temukyogerako.”

Read full chapter

26 (A)Bw’otwalanga ekyambalo ky’omuntu ng’akakalu, kimuddize ng’enjuba egenda okugwa;

Read full chapter

Okununula Abaddu

39 (A)“Era munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga ng’ali nammwe, ne yeetunda gye muli, temumukozesanga nga muddu. 40 Munaamukozesanga ng’omupakasi ow’empeera oba ng’omusuze obusuze, ng’ali nammwe. Anaabaweerezanga okutuusa mu Mwaka gwa Jjubiri. 41 (B)Kale nno, olwo anaalekebwanga n’addayo ewaabwe, ye n’abaana be, mu kika kye ku butaka bwa bakadde be. 42 Kubanga baweereza bange be naggya mu nsi y’e Misiri; tebaatundibwenga ng’abaddu. 43 (C)Temubafugisanga bukambwe, naye mutyenga Katonda wammwe.

Read full chapter

(A)Abamu ne boogera nti, “Twasingawo ebibanja byaffe, n’ennimiro zaffe ez’emizabbibu n’amaka gaffe tuleme okufa enjala mu kyeya.” (B)N’abalala ne boogera nti, “Twewola sente okusobola okusasula omusolo gwa kabaka ku bibanja byaffe ne ku nnimiro zaffe ez’emizabbibu. (C)Newaakubadde nga tuli omusaayi gumu ne baganda baffe, n’abaana baffe baana baabwe, kyatuleetera okuwaliriza batabani baffe ne bawala baffe okubawaayo mu buddu. Abamu ku bawala baffe twali twabawaayo dda mu busibe; kaakano tetusobola kununula bibanja byaffe ebyo kubanga abantu abalala baabitwala awamu n’ennimiro zaffe ez’emizabbibu.”

Read full chapter

(A)Kubanga waggya ku muganda wo emisingo awatali nsonga;
    waggya engoye ku bantu, n’obaleka bwereere.

Read full chapter

(A)Omwana atalina kitaawe bamusika ku mabeere;
    omwana omuwere ow’omwavu bamuwamba olw’ebbanja.

Read full chapter