Add parallel Print Page Options

Dawudi Aweereza Sawulo

14 (A)Awo Omwoyo wa Mukama Katonda yali avudde ku Sawulo, omwoyo omubi ogwava eri Mukama ne gumucoccanga.

Read full chapter

23 (A)Awo buli omwoyo omubi okuva eri Katonda lwe gw’ajjanga ku Sawulo, Dawudi n’amukubiranga entongooli, Sawulo n’akkakkana, era n’awulira bulungiko, n’omwoyo omubi ne gumuvaako.

Read full chapter

10 (A)Olunaku olwaddirira omwoyo omubi okuva eri Katonda ne gujja ku Sawulo n’amaanyi mangi, n’ayogera eby’obunnabbi mu lubiri lwe, Dawudi nga bw’akuba entongooli nga bwe yakolanga buli lunaku. Sawulo yalina effumu mu ngalo ze,

Read full chapter

22 (A)Mukama n’abuuza nti, ‘Mu ngeri ki?’ Omwoyo ne guddamu nti, ‘Nzija kugenda nfuuke omwoyo ogw’obulimba mu mimwa gya bannabbi be bonna.’ Mukama n’addamu nti, ‘Ojja kusobola okumusendasenda, genda okole bw’otyo.’

Read full chapter

14 (A)Mukama abataddemu
    omwoyo omubambaavu
era baleetedde Misiri okutabukatabuka mu byonna by’ekola,
    ng’omutamiivu atagalira mu bisesemye bye.

Read full chapter

33 (A)Zikusanze ggwe omuzikiriza
    ggwe atazikirizibwanga.
Zikusanze ggwe alya olukwe mu balala,
    ggwe, gwe batalyangamu lukwe,
bw’olirekaraawo okuzikiriza,
    olizikirizibwa.
Bw’olirekeraawo okulya mu balala olukwe,
    balikulyamu olukwe.

Read full chapter