Add parallel Print Page Options

35 (A)Ndyeyimusiza kabona omwesigwa, aligoberera ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange. Ndinywereza ddala ennyumba ye, era aliweerezanga ennaku zonna mu maaso g’oyo gwe ndifukako amafuta.

Read full chapter

11 (A)okuva lwe nalonda abalamuzi okufuga abantu bange Isirayiri. Era ndikuwa ebiseera eby’emirembe abalabe bo baleme okukuyigganya.

“ ‘ “Mukama akugamba nti Mukama Katonda yennyini, alinyweza ennyumba yo.

Read full chapter

27 “Ayi Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ekyo okibikkulidde omuddu wo ng’ogamba nti, ‘Ndikuzimbira ennyumba,’ omuddu wo kyavudde ayaŋŋanga okuwaayo okusaba okwo gy’oli. 28 (A)Ayi Mukama Katonda, oli Katonda, n’ebigambo byo bya mazima, era omuddu wo omusuubizza ebintu ebirungi. 29 (B)Kale nno okkirize okuwa ennyumba ey’omuddu wo omukisa enywerere mu maaso go ennaku zonna, kubanga ggwe Ayi Mukama Katonda oyogedde, era ennyumba ey’omuddu wo eneebanga n’omukisa ennaku zonna.”

Read full chapter

38 (A)Bw’onoogonderanga byonna bye nkulagira n’otambuliranga mu makubo gange, era n’okolanga ebituufu mu maaso gange ng’okugonderanga ebiragiro n’amateeka gange, nga Dawudi omuddu wange bwe yakola, nnaabeeranga naawe. Ndikukolera ekika eky’enkalakkalira, nga kye nakolera Dawudi, era ndikuwa ne Isirayiri.

Read full chapter