1 Samwiri 25:42
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
42 (A)Awo Abbigayiri n’ayanguwa okwebagala endogoyi, ng’awerekeddwako abaweereza bataano, n’agenda n’ababaka ba Dawudi, n’amufumbirwa.
Read full chapter
2 Samwiri 13:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Amunoni ne Tamali
13 (A)Abusaalomu, mutabani wa Dawudi yalina mwannyina omulungi, omubalagavu erinnya lye Tamali[a], naye Amunoni omu ku batabani ba Dawudi omulala n’ayagala okwebaka naye.
Read full chapterFootnotes
- 13:1 Tamali yali muwala wa Maaka, omumbejja w’e Gesuli (3:3). Amunoni yali mutabani wa Akinoamu. Akinoamu ye yali mukyala wa Dawudi omukulu, nga Amunoni ye mutabani wa Dawudi omukulu, nga y’ateekwa okusikira Dawudi ku ntebe ey’obwakabaka
2 Samwiri 13:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)Awo Abusaalomu n’alagira abaddu be nti, “Muwulire! Mugenderere okulaba Amunoni ng’atudde, n’omutima gwe nga musanyuukirivu; bwe n’abagamba nti, ‘mutte Amunoni,’ mumutte. Temutya, si nze mpadde ekiragiro? Mube n’amaanyi era mube bazira.”
Read full chapter
1 Samwiri 27:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Mu bbanga eryo, Dawudi n’abasajja be ne bambuka ne balumba Abagesuli, n’Abagiruzi, n’Abamaleki. Okuva edda n’edda abo be bantu abaabeeranga mu nsi eyo okuva e Suuli okutuuka e Misiri.
Read full chapter
2 Samwiri 13:37
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
37 (A)Abusaalomu ye n’addukira eri Talumaayi mutabani wa Ammikuli, kabaka w’e Gesuli, Dawudi n’amukaabiranga buli lunaku.
Read full chapter
2 Samwiri 14:32
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
32 (A)Abusaalomu n’agamba Yowaabu nti, “Laba, nakutumya, nga ŋŋamba ojje wano nkutume eri kabaka okumubuuza nti, ‘Lwaki nava e Gesuli? Kyandisinze singa nasigala eyo.’ Kaakano njagala kugenda mu maaso ga kabaka, obanga nnina omusango, anzite.”
Read full chapter
2 Samwiri 15:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Omuweereza wo bwe yabeeranga e Gesuli mu Busuuli, nakola obweyamo nga ŋŋamba nti, ‘Mukama bw’alinzizaayo e Yerusaalemi, ndisinza Mukama.’ ”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.