Add parallel Print Page Options

(A)Awo Dawudi n’abuuza Akimereki Omukiiti ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya[a] nti, “Ani anaaserengeta nange, tugende mu lusiisira lwa Sawulo?” Abisaayi n’addamu nti, “Nze n’aserengeta naawe.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 26:6 Zeruyiya ye yali mwannyina Dawudi omukulu (1By 2:16). Noolwekyo Abisaayi, ne Yowaabu (eyafuuka omuduumizi w’eggye kya Dawudi) ne Asakeri baali batabani be (2Sa 2:18).

18 (A)Batabani ba Zeruyiya abasatu Yowaabu, Abisaayi, ne Asakeri baaliyo, era Asakeri yali muwenyusi wa misinde ng’empeewo ey’omu ttale.

Read full chapter

13 (A)Yowaabu[a] mutabani wa Zeruyiya n’abasajja ba Dawudi ne bagenda okubasisinkana ku kidiba eky’e Gibyoni. Ekibinja ekimu ne kituula ku luuyi olumu olw’ekidiba, n’ekirala ne kituula ku luuyi olulala.

Read full chapter

Footnotes

  1. 2:13 Yowaabu ye ne Abisaayi ne Asakeri baali batabani ba Dawudi (nny. 8). Mwannyina Dawudi, Zeruyiya ye yali nnyabwe