Add parallel Print Page Options

(A)Awo Dawudi n’abuuza Akimereki Omukiiti ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya[a] nti, “Ani anaaserengeta nange, tugende mu lusiisira lwa Sawulo?” Abisaayi n’addamu nti, “Nze n’aserengeta naawe.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 26:6 Zeruyiya ye yali mwannyina Dawudi omukulu (1By 2:16). Noolwekyo Abisaayi, ne Yowaabu (eyafuuka omuduumizi w’eggye kya Dawudi) ne Asakeri baali batabani be (2Sa 2:18).

28 (A)“Tovumanga Katonda, wadde okwogera obubi ku bafuzi bammwe.

Read full chapter

(A)Nzuuno mu maaso gammwe. Munnumirize ensonga yonna mu maaso ga Mukama ne mu maaso g’oyo gwe yafukako amafuta. Ani gwe nnali ntwalidde ente ye? Oba ani gwe nnali ntwalidde endogoyi ye? Oba ani gwe nnali ndyazaamaanyizza? Oba ani gwe nnali njooze? Oba ani gwe nnali nsabye enguzi? Bwe wabaawo anvunaana mu nsonga yonna nzija kumuliyira.”

Read full chapter

(A)Naye Dawudi n’addamu Abisaayi nti, “Tomuzikiriza, kubanga ani ayinza okugolola omukono gwe okutta oyo Mukama gwe yafukako amafuta, n’ataba na musango?

Read full chapter

Simeeyi n’akolima, nga bw’ayogera nti, “Fuluma, vva wano, ggwe omusajja eyasaaba omusaayi, era ataliiko bw’ali! (A)Mukama akusasudde olw’omusaayi gwonna gwe wayiwa mu nnyumba ya Sawulo, gwe waddira mu bigere. Mukama obwakabaka abugabidde mutabani wo Abusaalomu. Laba ekikutuusizza kw’ekyo, kubanga engalo zo zijjudde omusaayi!”

Read full chapter