Add parallel Print Page Options

Dawudi Asenga mu Bafirisuuti

27 Dawudi n’afumiitiriza mu mutima gwe ng’agamba nti, “Luliba lumu Sawulo n’anzita. Ekisinga obulungi kwe kuddukira mu nsi y’Abafirisuuti. Awo nno Sawulo anaalekeraawo okunnoonyeza mu Isirayiri, era bwe ntyo bwe nzija okumuwona.”

(A)Awo Dawudi n’abasajja lukaaga ne basitula ne bagenda eri kabaka Akisi mutabani wa Mawoki ow’e Gaasi. (B)Dawudi n’abasajja be ne basenga mu Gaasi ewa Akisi, buli musajja ne nnyumba ye yonna, ne Dawudi n’abakyala be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri Omukalumeeri, nnamwandu wa Nabali. Awo Sawulo bwe yategeezebwa nga Dawudi yaddukira e Gaasi n’alekeraawo okumunoonya.

Awo Dawudi n’agamba Akisi nti, “Obanga ndabye ekisa mu maaso go, wabeewo ekifo ekiba kimpebwa mu kimu ku bibuga ebitonotono, ntuule eyo. Lwaki omuweereza wo abeera naawe mu kibuga ekikulu eky’obwakabaka?”

(C)Awo ku lunaku olwo, Akisi n’amuwa Zikulagi, era kyekyava kibeera ekibuga kya bakabaka ba Yuda, n’okutuusa leero. (D)Dawudi n’abeera mu nsi ey’Abafirisuuti okumala omwaka gumu n’emyezi ena. (E)Mu bbanga eryo, Dawudi n’abasajja be ne bambuka ne balumba Abagesuli, n’Abagiruzi, n’Abamaleki. Okuva edda n’edda abo be bantu abaabeeranga mu nsi eyo okuva e Suuli okutuuka e Misiri. (F)Dawudi buli lwe yalumbanga ekitundu, teyalekangawo musajja newaakubadde omukazi, naye yatwalanga endiga, n’ente, endogoyi n’eŋŋamira, n’engoye; n’oluvannyuma n’addayo eri Akisi.

10 (G)Awo Akisi yamubuuzanga nti, “Leero walumbye wa?” Dawudi yaddangamu nti, “Ebukiikaddyo obwa Yuda,” oba nti, “Ebukiikaddyo obw’Abayerameeri[a],” oba nti, “Ebukiikaddyo obw’Abakeeni[b].” 11 Teyalekangawo musajja newaakubadde omukazi nga mulamu okubaleeta e Gaasi, kubanga yalowooza nti, “Bakyayinza okutuloopa, nga boogera nti, ‘Dawudi akola kino na kino.’ ” Era eyo ye yali ng’empisa ye, ebbanga lyonna lye yabeera mu nsi ey’Abafirisuuti. 12 Akisi ne yeesiga Dawudi, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Alabika yeetamiddwa abantu be Abayisirayiri, kale kyanaava afuuka omuweereza wange emirembe gyonna.”

Footnotes

  1. 27:10 Abayerameeri baali bazzukulu ba Yuda nga bava mu Kezulooni (1By 2:9, 25, 26)
  2. 27:10 Laba mu Bal 4:11

David Among the Philistines

27 But David thought to himself, “One of these days I will be destroyed by the hand of Saul. The best thing I can do is to escape to the land of the Philistines. Then Saul will give up searching for me anywhere in Israel, and I will slip out of his hand.”

So David and the six hundred men(A) with him left and went(B) over to Achish(C) son of Maok king of Gath. David and his men settled in Gath with Achish. Each man had his family with him, and David had his two wives:(D) Ahinoam of Jezreel and Abigail of Carmel, the widow of Nabal. When Saul was told that David had fled to Gath, he no longer searched for him.

Then David said to Achish, “If I have found favor in your eyes, let a place be assigned to me in one of the country towns, that I may live there. Why should your servant live in the royal city with you?”

So on that day Achish gave him Ziklag,(E) and it has belonged to the kings of Judah ever since. David lived(F) in Philistine territory a year and four months.

Now David and his men went up and raided the Geshurites,(G) the Girzites and the Amalekites.(H) (From ancient times these peoples had lived in the land extending to Shur(I) and Egypt.) Whenever David attacked an area, he did not leave a man or woman alive,(J) but took sheep and cattle, donkeys and camels, and clothes. Then he returned to Achish.

10 When Achish asked, “Where did you go raiding today?” David would say, “Against the Negev of Judah” or “Against the Negev of Jerahmeel(K)” or “Against the Negev of the Kenites.(L) 11 He did not leave a man or woman alive to be brought to Gath, for he thought, “They might inform on us and say, ‘This is what David did.’” And such was his practice as long as he lived in Philistine territory. 12 Achish trusted David and said to himself, “He has become so obnoxious(M) to his people, the Israelites, that he will be my servant for life.(N)