Add parallel Print Page Options

31 (A)n’e Kebbulooni, ne bonna abaali mu bifo byonna Dawudi ne basajja be gye baatambuliranga.

Read full chapter

35 (A)Ndyeyimusiza kabona omwesigwa, aligoberera ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange. Ndinywereza ddala ennyumba ye, era aliweerezanga ennaku zonna mu maaso g’oyo gwe ndifukako amafuta.

Read full chapter

(A)Awo abakadde bonna aba Isirayiri bwe bajja eri kabaka e Kebbulooni, n’akola nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama Katonda, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri[a].

(B)Dawudi we yatanulira okuba kabaka yalina emyaka amakumi asatu; n’afugira emyaka amakumi ana. (C)Mu Kebbulooni n’afugirayo Yuda emyaka musanvu n’ekitundu, ate mu Yerusaalemi n’afugiramu Isirayiri yenna ne Yuda emyaka asatu mu esatu.

Read full chapter

Footnotes

  1. 5:3 Guno gwali mulundi gwa kusatu Dawudi okufukibwako amafuta, okukakasa nti ye kabaka wa Isirayiri.

11 (A)Naye abatuuze b’e Yabesugireyaadi bwe baawulira Abafirisuuti kye baali bakoze Sawulo, 12 (B)abasajja abazira bonna ne bagolokoka, ne batambula ekiro kyonna ne bagenda e Besusani. Ne bawanulayo omulambo gwa Sawulo, n’egya batabani be ku bbugwe ow’e Besusani, ne bagitwala e Yabesi ne bagyokera eyo. 13 (C)N’oluvannyuma ne baddira amagumba gaabwe ne bagaziika wansi w’omumyulimu e Yabesi, ne basiibira ennaku musanvu.

Read full chapter