Add parallel Print Page Options

Ebigambo bya Samwiri ng’Asiibula

12 (A)Samwiri n’ayogera eri Isirayiri yenna, ng’agamba nti, “Mpulirizza buli kintu kye muŋŋambye, ne mbateerawo kabaka okubafuga. (B)Kaakano mulina kabaka ng’omukulembeze wammwe. Naye nze nkaddiye, mmeze n’envi, era n’abaana bange bali wano nammwe. Mbadde mukulembeze wammwe okuva mu buvubuka bwange n’okutuusa leero. (C)Nzuuno mu maaso gammwe. Munnumirize ensonga yonna mu maaso ga Mukama ne mu maaso g’oyo gwe yafukako amafuta. Ani gwe nnali ntwalidde ente ye? Oba ani gwe nnali ntwalidde endogoyi ye? Oba ani gwe nnali ndyazaamaanyizza? Oba ani gwe nnali njooze? Oba ani gwe nnali nsabye enguzi? Bwe wabaawo anvunaana mu nsonga yonna nzija kumuliyira.”

Ne baddamu nti, “Totunyagangako newaakubadde okutujooga, wadde okulya enguzi okuva mu mukono gw’omuntu yenna.”

(D)Awo Samwiri n’abaddamu nti, “Mukama ye mujulirwa gye muli, era n’oyo gwe yafukako amafuta mujulirwa leero, nga sirina nsobi yonna mu maaso gammwe.” Ne baddamu nti, “Mujulirwa.”

(E)Samwiri n’agamba abantu nti, “Mukama ye yalonda Musa ne Alooni era n’aggya bajjajjammwe mu Misiri. (F)Kale nno, musseeyo omwoyo mutege amatu mu maaso ga Mukama, eri okubalamula era n’okubajjukiza ebikolwa eby’obutuukirivu Mukama bye yabakolera mmwe ne bajjajjammwe.

(G)“Yakobo bwe yabeera mu Misiri, bajjajjammwe ne bakaabirira Mukama; Mukama yatuma Musa ne Alooni, abaabaggya mu Misiri, n’abateeka mu kifo kino.

(H)“Naye ne beerabira Mukama Katonda waabwe, kyeyava abatunda mu mukono gwa Sisera omuduumizi w’eggye lya Kazoli, ne mu mukono gw’Abafirisuuti, ne mu mukono gwa kabaka wa Mowaabu, abaabalwanyisanga. 10 (I)Abayisirayiri ne bakaabirira Mukama, nga boogera nti, ‘Twasobya, twava ku Mukama ne tuweereza Babaali ne Baasutoleesi. Naye kaakano tulokole okuva mu mukono gw’abalabe baffe, tunaakuweerezanga.’ 11 (J)Mukama n’alyoka atuma Yerubbaali[a], ne Bedani, ne Yefusa ne Samwiri ne babalokola mu mukono gw’abalabe bammwe enjuuyi zonna, ne mutuula mirembe. 12 (K)Naye bwe mwalaba Nakkasi kabaka w’Abamoni ng’abalumba, newaakubadde nga Mukama Katonda wammwe ye yali kabaka wammwe ne muŋŋamba nti, ‘Nedda, ffe twagala kabaka okutufuga.’ 13 (L)Kaakano kabaka gwe mulonze era gwe mwasaba wuuno, era laba Mukama ataddewo kabaka okubafuga. 14 (M)Bwe munaatyanga Mukama ne mumuweerezanga, ne mugonderanga eddoboozi lye, ne mutajeemera biragiro bye, mmwe ne kabaka abafuga ne mugobereranga Mukama Katonda wammwe, kinaabanga kirungi. 15 (N)Naye bwe mutaagonderenga Mukama, ne mujeemera ebiragiro bye, omukono gwe gunaalwananga nammwe, nga bwe kyali ku bajjajjammwe.

16 (O)“Kale nno mulindirire mulabe ekintu ekikulu Mukama kyagenda okukola mu maaso gammwe. 17 (P)Bino kaakano si biseera bya kukungula ŋŋaano. Naye nzija kusaba Mukama, aweereze okubwatuka n’enkuba, mulyoke mutegeere nga kye mwakola okusaba kabaka kyali kibi mu maaso ga Mukama.”

18 (Q)Awo Samwiri n’asaba Mukama, Mukama n’aweereza okubwatuka n’enkuba, abantu bonna ne batya nnyo Mukama ne Samwiri. 19 (R)Awo abantu bonna ne bagamba Samwiri nti, “Tusabire eri Mukama Katonda wo, ffe abaweereza bo, tuleme kufa, kubanga twongedde ku bibi byaffe ebirala byonna, bwe twasabye kabaka.”

20 Samwiri n’addamu abantu nti, “Temutya, okukola mwakola ebibi ebyo byonna, naye temuvanga ku Mukama, kaakano mumuweerezenga n’omutima gwammwe gwonna. 21 (S)Temukyukanga okugoberera ebintu ebitaliimu, ebitayinza kubagasa wadde okubawonya, kubanga tebiriimu nsa. 22 (T)Mukama tagenda kwabulira bantu be, olw’erinnya lye ekkulu, kubanga Mukama yasiima okubafuula ababe. 23 (U)Nze ku lwange, kikafuuwe, okwonoona eri Mukama ne ssibasabira; nnaabalaganga ekkubo ettuufu era eggolokofu. 24 (V)Kyokka mutyenga Mukama era mumuweerezenga n’obwesigwa n’omutima gwammwe gwonna, nga mujjukira ebintu ebikulu bye yabakolera. 25 (W)Naye bwe muneeyongeranga okukola ebibi, mmwe ne kabaka wammwe mulizikirizibwa.”

Footnotes

  1. 12:11 Yerubbaali ye Gidyoni