Add parallel Print Page Options

(A)Abaagalwa, sibawandiikira kiragiro kiggya, naye mbawandiikira ekiragiro ekyabaawo edda, kye kyo kye mwawuliranga okuva ku lubereberye. (B)Kyokka nno ekiragiro kino kye mbawandiikira kiggya era kikakasirizibwa mu ye ne mu mmwe. Kubanga ekizikiza kigenda kiggwaawo era omusana ogw’amazima kaakano gwaka.

Omuntu agamba nti atambulira mu musana, kyokka ate n’akyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza. 10 (C)Naye ayagala owooluganda aba ali mu musana, era talinaawo kimwesittaza. 11 (D)Kyokka oyo akyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza, era mu kizikiza ekyo mw’atambulira, nga tategeera gy’alaga, kubanga ekizikiza kimuzibye amaaso.

Read full chapter

Mwagalanenga

11 (A)Kubanga buno bwe bubaka bwe twawulira okuva ku lubereberye nti twagalanenga,

Read full chapter

18 (A)“Towalananga ggwanga oba okusiba ekiruyi ku mwoyo eri munno yenna ow’omu nsi yo, naye yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. Nze Mukama.

Read full chapter

(A)Kaakano ku bikwata ku kwagalana kw’abooluganda sseetaaga kubibawandiikirako, kubanga mmwe mwennyini mwayigirizibwa Katonda okwagalananga.

Read full chapter

22 (A)Kale kaakano nga bwe mumaze okutukuza emyoyo gyammwe olw’okukkiriza amazima, ne mwagalanira ddala mu luganda lwennyini, mweyongere okwagalana n’omutima ogutaliimu bukuusa.

Read full chapter

12 (A)Kye mbalagira kye kino nti mwagalanenga nga Nze bwe mbaagala.

Read full chapter

(A)Mwagalanenga nga Kristo bwe yatwagala ne yeewaayo ku lwaffe n’afuuka ekiweebwayo era ssaddaaka eri Katonda, eyakawoowo akalungi.

Read full chapter

10 (A)Mu kino mwe tutegeerera ddala okwagala kwennyini, kubanga teyakikola lwa kuba nti ffe twali twagala Katonda, naye ye yennyini ye yatwagala, n’awaayo Omwana we ng’omutango olw’ebibi byaffe.

Read full chapter

11 (A)Kale abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala bw’atyo naffe tuteekwa okwagalananga.

Read full chapter