Add parallel Print Page Options

Abatume ba Kristo

(A)Omuntu asaanidde atulabe ng’abaweereza ba Kristo era abawanika b’ebyama bya Katonda. Ate era omuwanika kimugwanira okuba omuntu omwesigwa. Naye gye ndi ekyo kintu kitono nnyo mmwe okunsalira omusango oba omuntu yenna ku lunaku olw’okusalirako omusango; nange sseesalira musango. (B)Kubanga nze seemanyiiko nsonga yonna, wabula ekyo tekimpeesa butuukirivu, naye ansalira omusango ye Mukama waffe. (C)Noolwekyo temusalanga musango ekiseera nga tekinnatuuka okutuusa Mukama waffe lw’alijja, alimulisa ebyakwekebwa eby’ekizikiza, n’ayolesa n’ebigendererwa by’omutima, buli muntu n’alyoka atendebwa Katonda.

(D)Kaakano abooluganda ebintu ebyo mbigeredde ku nze ne ku Apolo ku lwammwe, mulyoke muyigire ku ffe obutasukkanga ku byawandiikibwa, omuntu omu alemenga okwegulumiza ng’anyooma omulala. (E)Kubanga ani akwawula? Era mulina kye mutaaweebwa? Kale obanga ddala mwaweebwa, kiki ate ekibenyumirizisa ng’abataakifuna? (F)Mwakkuta dda n’okugaggawala ne mugaggawala, era ne mufuuka bakabaka awatali ffe; naye nandyagadde mufuuke bakabaka, naffe tulyoke tufuukire wamu bakabaka nammwe. (G)Kubanga ndowooza nga ffe abatume, Katonda yatuteeka ku nkomerero ng’abasibe abalindirira okuttibwa, kubanga twafuulibwa ekyerolerwa eri ensi, eri bamalayika n’eri abantu. 10 (H)Tuli basirusiru ku bwa Kristo, naye mmwe muli bagezi mu Kristo; Ffe tuli banafu naye mmwe muli ba maanyi! Mmwe muli ba kitiibwa naye ffe tunyoomebwa. 11 (I)Era ne mu kiseera kino tulumwa enjala n’ennyonta nga tetulina na kyakwambala, tukubibwa era tubungeeta bubungeesi. 12 (J)Tutegana nga tukola emirimu n’emikono gyaffe; tusabira emikisa abo abatukolimira; bwe tuyigganyizibwa tugumiikiriza; 13 (K)abo abatuvuma tubaddamu ne gonjebwa. Era n’okutuusa kaakano tuli ng’ebisooto mu bigere era tuli ng’ebisaaniiko.

14 (L)Siwandiika bintu bino lwa kubaswaza naye lwa kubabuulirira ng’abaana bange abaagalwa. 15 (M)Kubanga newaakubadde mulina abalala nkumi na nkumi ababayigiriza ebya Kristo, naye mujjukirenga nga mulina bakitammwe batono. Kubanga nze mbazaala mu Kristo olw’enjiri. 16 (N)Noolwekyo mbongeramu amaanyi mulabire ku nze. 17 (O)Kyennava mbatumira Timoseewo omwana wange omwesigwa era omwagalwa mu Mukama waffe, anaabajjukizanga ebyo bye ngoberera mu Kristo Yesu nga bwe njigiriza wonna wonna mu buli Kkanisa.

18 Naye waliwo abamu mu mmwe abeekuluntaza nga balowooza nti sigenda kujja gye muli. 19 (P)Naye nzija mangu, Mukama bw’anaasiima ndyoke mmanye amaanyi g’abo abeekuluntaza so si mu bigambo obugambo. 20 Kubanga obwakabaka bwa Katonda tebuli mu kwogera bwogezi, wabula mu maanyi. 21 (Q)Kiruwa kye mwagala? Nzije n’omuggo, oba nzije na kwagala n’omwoyo ogw’obuwombeefu?