1 Bassekabaka 3:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)n’akola ky’osabye. Nzija kukuwa omutima omugezi era omutegeevu, so tewalibeerawo eyali akwenkanye oba alikwenkana.
Read full chapter
1 Bassekabaka 3:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)Isirayiri yonna bwe yawulira okusalawo kwa kabaka, ne beewuunya kabaka, kubanga baalaba ng’alina amagezi okuva eri Katonda okulamula ensonga.
Read full chapter
Isaaya 28:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Aliba n’omwoyo ogw’okusala ensonga mu bwenkanya
oyo atuula n’asala emisango,
Aliba nsibuko ya maanyi
eri abo abawoza olutabaalo ku wankaaki.
2 Samwiri 14:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)“Era omuweereza wo yayogedde mu mutima gwe nti, ‘Ekigambo kya mukama wange kabaka kye kirimpummuza, kubanga mukama wange kabaka ali nga malayika wa Katonda mu kwawulamu ebirungi n’ebibi. Mukama Katonda wo abeere naawe.’ ”
Read full chapter
2 Samwiri 18:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Kale singa mmusse ne ngwa mu mitawaana, tewandimpolerezza, kubanga omanyi nga tewali kigambo ekikwekebwa kabaka.”
Read full chapter
2 Samwiri 19:27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
27 (A)Yajja eri mukama wange kabaka n’ayogera ku muddu wo ebya kalebule. Naye mukama wange kabaka ali nga malayika wa Katonda, noolwekyo kola nga bw’osiima.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.